TOP

Bamukutte mu bubbi

By Eria Luyimbazi

Added 26th June 2019

Ashiraf Kivumbi ye yakwatiddwa poliisi y’e Wandegeya oluvannyuma lw’okumunoonyeza akaseera olw’okuteega abantu ku nguudo naddala olwa Bombo Road ne Gadaffi ne banne ne bakuba abantu ne babanyagako ebyabwe ku kifuba ne badduka nabyo.

Kivumbi2 703x422

Akulira ebikwekweto ku poliisi y'e Wandegeya, Mubaraka Ssemakula ng'atwala Kivumbi mu kaduukulu oluvannyuma lw'okukwatibwa.

POLIISI ekutte omuvubuka gw’erudde ng’enoonya agambibwa okuba mu kabinja ak’omutawaana akateega abantu ku nguudo mu bitundu by’e Wandegeya ne Makerere  ne babakuba n’okubanyaga.

Ashiraf Kivumbi ye yakwatiddwa poliisi y’e Wandegeya oluvannyuma lw’okumunoonyeza akaseera olw’okuteega abantu ku nguudo naddala olwa Bombo Road ne Gadaffi ne banne ne bakuba abantu ne babanyagako ebyabwe ku kifuba ne badduka nabyo.

Ono okukwatibwa,  abaserikale ku poliisi ye Wandegeya ku  Mmande baasoose kufuna mawulire nti waliwo gye yagenze okubba okuliraana paaka ya Namayiba ne bamukuba n’addukira ewa Maama we, Cate Nabakooza abeera mu Kivvulu okusobola okufuna obujjanjabi gye baamukwatidde.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti poliisi erudde ng’enoonya Kivumbi oluvannyuma lwa kkamera okumukwata ne banne nga banyaga abantu  n’okubakuba ne badduka  ng’olwakwatiddwa yayogedde gy’atunda omunyago.

Owoyesigyire yagambye nti poliisi yasooka kukwata munne wa Kivumbi nga ye Allan Kyaadi ng’ono ye yabuulira abaserikale banne bwe balii mu kabinja nga bakulirwa Kivumbi era nga basibuka mu kitundu kya Makerere Kivvulu ne bagenda ku nguudo okuteega abantu ab’okubba nga ye yatwalibwa mu kkooti n’avunanibwa  nga kati ali ku limanda e Luzira.

Yategeezezza nti  egimu ku misango poliisi kw’erina obujulizi obuluma Kivumbi kuliko bwe yakuba Omuchina Yuquang  Wei  n’amumenya omukono ssaako okumwasa ffeesi bwe yamusikambulako ensawo omwali ebintu bye  bwe yamusanga ku Bat Valley  nga May 3 2019  ng’ono yatwalibwa Kenya okufuna obujjanjabi  nga poliisi yaggulawo omusango oguli ku faayiro CRB 267/2019.

Yagasseeko nti Kivumbi era abadde anyakula ssimu z’abantu n’addukira mu mwala gw’e Nakivubo  ng’abantu bwe bagezaako okumuwondera banne bwe bali mu kabinja nga bamutaasa era nga poliisi erina fayiro z’emisango etaano  mwe yenyigidde.

Kivumbi akuumirwa ku poliisi e Wandegeya ku musango gw’obubbi oguli ku fayiro SD 10/02/06/2019 era yayogedde omusajja Baker Mayanja akolera ku kizimbe kya Mutaasa Kafeero gw’alumiriza okuguza amasimu g’abbye ku bantu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...