TOP

Bakansala bakubaganidde mu kanso

By Eria Luyimbazi

Added 27th June 2019

KANSO y’e Lubaga eyayitiddwa okuteesa ku kasasiro asusse mu Munisipaali eyo yayiise oluvannyuma lwa bakansala okuwaanyisiganya ebisongovu n’ekyaddiridde kulwaganagana.

Kanso 703x422

Bakansala nga bagezaako okutangira munnaabwe Lubega (wakati) okulumba Lusembo.

Bya ERIA LUYIMBAZI
 
KANSO y’e Lubaga eyayitiddwa okuteesa ku kasasiro asusse mu Munisipaali eyo yayiise oluvannyuma lwa bakansala okuwaanyisiganya ebisongovu n’ekyaddiridde kulwaganagana.
 
Embeera okutabuka, bakansala baasoose kukakasa ebiteeso bya kanso eyasembyeyo wabula ne bafuna obutakkaanya ku kkampuni eziyoola kasasiro ng’abamu bawagira zisigale nga zikola kyokka abalala nga bakiwakanya.
 
Omumyuka Meeya Asuman Ntale eyakubirizza kanso ebintu byamutabuseeko Kansala Juma Lubega amanyiddwa nga Kabotongo (Kabowa I) bwe yasituse ng’agamba nti baali basazeewo kkampuni zonna eziyoola kasasiro zigobwe mu Lubaga kuba omulimu ogwazikwasibwa guziremye ng’ayagala KCCA yezze obuvunaanyizibwa wabula banne ne bamuwakanya nga bagamba nti zikoze bulungi.
 
Wabula Musa Lusembo (Ndeeba III) yamucoomedde n’amulagira atuule wansi kuba yabadde alemesa olukiiko okugenda mu maaso nga kino kyaggye Lubega mu mbeera n’amwambalira ne beesika ebitogi era baabadde bafunya ku mikono gy’amasaati gaabwe bakubagane, bakansala abalala ne babatebuka.
 
Embeera yalemeredde Ntale n’alagira omuserikale wa kanso okukwata omuggo ogwa Kanso ne bafuluma olukiiko, bw’etyo kanso n’eyabuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mpolo9webusebig 220x290

Bakatikkiro b'ebika bafunye essuubi...

Ssaabawolereza wa Mmengo, Christopher Bwanika yasabye ebika okuwandiisa enkiiko z'abayima era balambike bulungi...

Renah1 220x290

Renah Nalumansi azaalidde maneja...

Omuyimbi Renah Nalumansi azaalidde Justin Bas omusika ne yeewaana "sikyali mu kiraasi ya ba laavu nigga"

Tegula 220x290

Mutabani, buno bwe butaka bwaffe...

MUTABANI wa Bobi Wine akuze. Era nga taata ow’obuvunaanyizibwa, Bobi Wine takyaleka mutabani we waka.

Fun 220x290

Nakakande yeeriisa nkuuli mu Miss...

NNALULUNGI wa Uganda, Oliver Nakakande (owookubiri ku ddyo) ayongedde okutangaaza emikisa gye okuvuganya mu mpaka...

Kubayo 220x290

Eddy Kenzo Guma newange bibuuza...

ABAYIMBI Jose Chameleone ne Eddy Kenzo baabaddeko mu kivvulu kya Wizkid e Lugogo. Baalabiddwaako nga beesika mu...