TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Vision Group n'aba NFA bakusimba emiti okutaasa obutonde bw'ensi

Vision Group n'aba NFA bakusimba emiti okutaasa obutonde bw'ensi

By Martin Ndijjo

Added 29th June 2019

Kabushenga asabye ab'ekitongole ky'ebibira ekya NFA okwegatta ku Vision group mu kkampeyini y’okusimba emiti okutaasa obutonde bw'ensi.

Kabushen 703x422

Okello (ku ddyo) ng'aliko byanyonyola Kabushenga

MU kaweefube wa kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde gw’eriko okukwataganira awamu n’ebitongole ebyenjawulo ssaako abantu ssekinnoomu okutaasa obutonde bw’ensi nga bayita mu kusimba emiti okwetolola eggwanga,

Robert Kabushenga akulira Vision Group asisinkanye Tom .O. Okello akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibira mu ggwanga ekya ‘National Forestry Authority’ (NFA) n’ekigendererwa ky’okulaba engeri ebitongole byombi gye biyinza okukolaganira awamu mu kaweefube ono.

Kabushenga yayanjulidde Okello enteekateeka egenda mu maaso n’amutegeeza nga bwe yeetaaga ebitongole ebiyinza okumuyambako mu kusimba emiti waakiri akakadde kamu era ayagala ab’ekitongole kya NFA bayambe mu kufuna endokwa ez’omulembe n’obukugu obwetaagisa mu kusimba emiti gino.

Kabushenga ayagala basimbe ebika by’emiti eby’enjawulo omuli binnansangwa ng’emivule, emigavu n’ebika ebirala omuli n’emiti gy’ebibala ng’okugisimba bagobera ebitundu emiti egy’enjawulo gye gikula obulungi era ayagala enteekateeka eno ekolebwe mu bwangu okutuuka ku nkomerero y’omwaka guno ng’abantu basimba.

Okello yasanyukidde enteekateeka eno n’ategeeza nga bw’ali omwetegefu okwegatta ku kaweefube ono era aliko n’amagezi ag’ekikugu ge yawadde Kabushenga n’okumubuulira ebirala bye bateekeddwa okutunuulira n’okugobera.

Okello yalaze obweraliikirivu olw’engeri ebibira gye biri mu kusaanyizibwa naddala mu bitundu eby’omu bukiikakkono bw’eggwanga, obuvanjuba ne Kalamoja  ng’eno gye basinga okwokya amanda obutafaananako n’ebugwanjuba ssaako n’amasekkati ng’eno ebibira bigenda biddawo.

Okello era yalabudde ku bulabe obwolekedde abantu b’e Bulambuli gye basegulira abantu abava e Bududa ng’agamba nti ekifo kyereerezi tewali miti omuyaga kyangu nnyo okubakosa n’asaba Kabushenga nti bwe kiba kisoboka kaweefube ono bandimutongolezza mu kitundu kino bayambe abantu bano okufuna emiti egy’ebibala n’enku.

Ku nsonga y’abantu abalina ebyapa ku ttaka ly’ebibira, Okello yategeezezza nti ebyapa ebisoba mu 200 bisaziddwaamu nga n’ebirala birinze kiva mu kakiiko k’ebyettaka kyokka n’asiima abo ababikomezzaawo kyeyagalire.

Yagasseko nti abbo abalina bye bakolera ku ttaka ly’ebibira basobola okusaba olukusa ne babakiriza okusigala nga bakolera singa bye bakola bibeera tebirina buzibu na bibira oba obutonde bw’ensi okugeza abasimba emiti gy’okutunda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bba wa Julie Angume talabiseeko...

JULIE Angume ebintu bimutabuseeko bbaawe omupya, Sam Sekajugo bw’atalabiseeko ku mukolo gwe ogw’okumwanjula mu...

Fanayo 220x290

Obukodyo mukaaga bwe nkozesa okulembeka...

OBUYIIYA bwa ssente ebiseera ebisinga kiva ku kusoma embeera gy’otambuliramu, kati mu kaseera nga kano ak’ennaku...

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.