TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannaddiini bakubaganye empawa ku ssente eziweebwayo mu kusabira omufu

Bannaddiini bakubaganye empawa ku ssente eziweebwayo mu kusabira omufu

By Benjamin Ssebaggala

Added 30th June 2019

Bannaddiini bakubaganye empawa ku ssente eziweebwayo mu kusabira omufu

Nse2 703x422

Omwogezi w'abasiraamu ow'ekiwayi kya Kampala mukadde Hajji Nsereko Mutumba ku kkono ate ku ddyo ye Wilberforce Kityo Luwalira akulira obulabirizi bw'e Namirembe.

ABAKRITAAYO   mu bulabirizi bw’e Namirembe boogera obwama n’abamu okutolotooma oluvannyuma lw’abakulira ekkanisa okuyisa ekiteeso batandike okulobola sente ezikung’aanyizibwa mu kusabira omukristaayo afudde.

Ekiteeso kyayisiddwa olukiiko lw’Obulabiririzi (Diocesan Council) olwatudde May 24, 2019 era Omuwandiisi w’Obulabirizi Rev. Can. Nelson Kaweesa n’awandiikira Abakritaayo bonna okuyita mu kkanisa ezibatwala ng’abategeeza ekyasaliddwawo nti sente ezikung’aanyizibwa mu kusabira Omukristaayo afudde kugenda kuvaako omutemwa ogudda mu kkanisa.

Wabula kkanisa n’omuzikiti bakigaanye ne bategeeza nti amabugo galina kuweebwa ab’oluganda lw’oyo eyafudde. Klezia ebirabo by’ekung’aanya bisigalawo kukola mirimu gya Klezia

Enkola ebaddewo mu kkanisa nga ssi ya buwaze, kkanisa nga bw’esabira Omukristaayo afudde, sente ezikung’aanyizibwa mu kusaba bazikwazikwata zonna ne baziwa abooluganda lw’omugenzi okumuyambako mu nteekateeka ez’enjawulo asobole okuwerekera omuntuwe.

Wabula enkola empya Can. Kaweesa gye yayanjulidde Abakritaayo eragira nti ebitundu 25 ku 100 ku sente ezikung’aanyiziddwa zisigale mu kkanisa eyo ziyambeko ku nsonga okusasulira ebintu ebimu eby’eyambisibwa mu kusaba at’ebitundu 75 ku 100 ziweebwe ab’oluganda lw’omugenzi.

Ebbaluwa ya Can. Kaweesa eraga nti ekyo tekijja kukolerwa ku mufu gwe basabidde mu kkanisa wokka wabula ne mu bifo ebirala ne bwe wabeera waka webategekedde okusabira Omukristaayo   afudde kasita kubeera nga kukulembeddwa muweereza wa kkanisa.

Abaludde nga batuula mu lukiiko lw’obulabirizi bagamba nti ekiteeso ekyo kirudde nga kireetebwa okuva ku mulembe gw’Omulabirizi Samuel Ssekkadde kyokka nga bakisimbira ekkuuli. Omulundi guno nga kiyisibwa baataddeko enkola nti sente zijja kukung’aanyizibwanga ng’okusaba kutandika kisobole okuwa abazibala obudde okuziteekateeka baloboleko omutemwa ogudda mu famire.

BAKIKOLA BATYA MU BULABIRIZI OBULALA:

MITYANA: Omulabirizi w’e Mityana Rt. Rev. Stephen Kazimba Mugalu yategezezza Bukedde nti babadde n’enkola eno ebbanga lyonna ga basondera abafiiriddwa ssente naye ekkanisa ebadde terina mutemwa guggyibwako.

Wabula nga bwekiri nti Obulabirizi bw’e Namirembe omwava obw’e Mityana buleese enkola eno, nabo bagenda kukitunulamu balabe nga nayo kitandika okukola. Yagambye nti nabo bayinza obutawukana na bitundu 25% Namirembe bye yataddewo kuba zino ssente zigenda kuba zikola ku byetaago by’ekkanisa mu kusabira abagenzi ssaako okulongoosa ekifo singa okusaba kuba kuwedde.

LUWEERO: Omulabirizi Rt. Rev. Eridard Kironde Nsubuga yagambye nti ye mu bulabirizi bw’e Luweero tebalinaayo kusolooza mabugo wabula bwe baba basabira abafudde bawaayo kwebaza olwo ssente ne zikola ku mirimu gy’ekkanisa egy’enjawulo.

Amabugo gasondebwa baluganda mu nnyimbe zaabwe naye mu kkanisa tekibangawo era tasuubira kukikola.


“Ffe mu kusaba tutekawo okwebaza kubanga emirimu mingi egikolebwa Obulabirizi nga mu kino bannakibuga ababa bazze ewaffe mu byalo okuziika baddayo ate ffe ne tusigala nga tulina ebitubanja y’ensonga lwaki tuteekawo kwebaza nga kigendererwamu kuyamba mirimu gya kkanisa.

ABASIRAAMU:

Hajji Nsereko Mutumba: Omwogezi wa Uganda Muslim Supreme Council yategeezezza nti mu Busiraamu tewali munwe gwa nnusu omuntu gw’alina okusasula okusaalira omufuwe mu muzikiti.

Amabugo gonna agakung’aanyiziddwa gaweebwa famire efiiriddwa omuntu so ssi muzikiti gubeere ogwa Supreme Council oba omuzikiti ogusookerwako wansi.  Eby’okukung’aanya amabugo bikolebwa mu nzikiriza endala so ssi mu muzikiti.

ENKOLA YA KLEZIA: Fr. Joseph Mukasa Nkeera omwogezi w’essaza ekkulu erya Kampala: Ndowooza ekigambo Mabugo kigenda n’enkola eriwo, mu mpisa y’Abaganda omuntu afiiriddwa gwe bawa amabugo gamuyambeko mu nteekateeka z’okuziika n’okukola emirimu emirala mu kufiirwa.

Klezia ng’etegese mmisa erimu okusabira omugenzi wabeerawo omutemwa oguweebwayo, sente ezo zibeera zaakuyambako okulabirira ekifo ng’okukirongoosa n’ebirala. Ssinga wabeerawo mmisa yonna, ebeeramu okuwaayo ebirabo era ebirabo ebyo bibeera bya Klezia so ssi Faaza abeera akulembedde emmisa

Klezia tebeeramu kukung’aanya Mabugo, galina kuweebwa oyo afiiriddwa. Mmisa ne bw’ebeera yaakusabira mugenzi nga Faaza azze mu maka ebirabo ebikung’aanyizibwa mu mmisa eyo bibeera bya klezia so ssi mabugo.

Abantu abamu bakola ensobi n’obawulira nga bagamba nti Faaza eyasomye mmisa baamuwadde ebirabo, ekyo kibeera kikyamu kubanga ebirabo ebiweebwayo bidda eri Katonda so ssi bya Faaza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo