TOP

Bugingo alaze omugole mu lujjudde

By Musasi wa Bukedde

Added 30th June 2019

Bugingo alaze omugole mu lujjudde

Det2 703x422

OMUSUMBA Aloysius Bugingo yazze n’omugole Suzan Makula Nantaba nga bamutikkira omukolo ne gubuguma. Ono mukyala wa Bugingo, Teddy Naluswa gw’azze alumiriza okukyusa obwongo bwa bba n’okubatabulira amaka.

Teddy teyayitiddwa era bakira ebigenda mu maaso bimutuusibwako omu ku bawagizi be mu kkanisa. Nantaba eyalabise ng’omukolo yabadde agwetegekedde bulungi yabadde ayambadde olugoye oluggyayo ffi ga ye nga lumunyumidde. Olwatuuse ku mukolo ne bamutuuza wakati w’abakyala babiri abagambibwa okuba bannyina ba Bugingo, Night ne Jean abaavudde e Rwanda olwo n’akkalira bulungi.

Obwedda kalabaalaba w’emikolo ayaniriza abagenyi amwogerako ng’omugole ekyakubizza abaabaddewo enduulu. Omukolo gwabaddewo ku Lwokutaano ku ttendekero lya Pasita Simeon Kayiwa erya Kayiwa International University ku Balintuma Road e Mengo ku Lwokutaano.

Bugingo yatikkiddwa ne banne 80 mu dipuloma n’amabaluwa mu by’eddiini. Paasita Kayiwa yakubirizza abaatikkiddwa okussa mu nkola bye basomye okukyusa obulamu bw’abantu abalala ssaako okwebaza Pulezidenti ne mukyala we Janet Museveni olw’obuyambi bwe bamuwadde ku ttendekero lino n’omukolo guno. Dr. Rivers Clyde eyatikkidde abayizi yabakubirizza okwekwata Katonda kuba awali Katonda omuntu asobola okwetandikira ekintu kyonna ku lulwe.

Bugingo y’omu ku bayizi abaasinze okuyita obulungi era yaweereddwa engule okumuyozaayoza okumegga emisomo. Engule ezaamuweereddwa yasituse n’azitwalira Suzan Makula Nantaba wakati mu nduulu okuva mu bagoberezi n’abayizi abaabaddewo. Nantaba yasituse n’asooka amugwa mu kifuba olwo ne batuula. Obwedda Suzan akuba Bugingo oluuso abaabaddewo lye baayogeddeko nti lwabadde lisonsomola nga lirimu n’obubaka bw’omukwano.

Bombi baabadde basanyufu nnyo ate nga banyumye okukamala. Twatuukiridde Nantaba akubaako bye tumubuuza ku nkolagana ye ne paasita Bugingo era n’atwanukula nti: Bukedde: Mwebale kusabira musumba kuwangula misomo.

Suzan: Katonda mulungi amuwanguzizza kuba ayise mu kusoomoozebwa kungi era tumuyozaayoza. Bukedde: Obwedda bakuyita mugole, omugole omusajja y’ani era embaga tugisuubire ddi? Suzan: Abaamawulire sisobola kubalemesa kuwandiika kyemwagala. Bukedde: Omusumba Bugingo omuyita otya?

Suzan: Bboosi wange ku Salt Media. Bukedde: Ate ebigambibwa nti mulina enkolagana esukka ku ya mukamaawo: Suzan: Ebyo byammwe nze mbabuulidde nti bboosi wange. Bukedde: Oli mufumbo era olina abaana bameka? Suzan: Nnina omwana omu, ndi mufumbo era mbumazeemu emyaka esatu, mbuzaayo abaana 11 ntuukirize ekirooto kyange eky’okuzaalira omwami wange daziini y’abaana. (Daziini ebaamu ebintu 12). Bukedde: Waliwo abagamba nti muli mu mukwano omusuffu era n’embaga enaatera okutuuka: Suzan: Lwaki temubuuza ye?

Kyemmanyi nti omusajja y’akwana omukazi bw’ayagala n’akkiriza oba okugaana. Omusumba bw’anaalangirira nti ndi mukyala we nga ntandika okukyeyita. Ye Omusumba Bugingo ensonga zino teyazoogeddeko kiwanvu wabula olwamubuuzizza yazzeemu kimu nti: Kati ebibuuzo ebisinga bigenda byanukulwa! Wiiki bbiri eziyise, Bugingo yabadde ku ttivvi emu ne bamubuuza ky’ayogera ku Suzan Makula Nantaba n’agamba nti y’omu ku bakyala abagezi ennyo mu kukola omulimu gw’oba Pulodyusa omuli okutegeka pulogulaamu n’okusunsula ennyimba ezikubibwa ku mikutu kya Bugingo egy’enjawulo.

EMBAGA YA OCTOBER Kigambibwa nti oluvannyuma lwa Bugingo okulaga Nantaba mu bantu era n’atambula naye awatali kwekwekerera, kati emikolo gy’embaga giri mu ggiya ya waggulu era tewakyali kibasiba. Ku Lwokuna nga May, 9 omwaka guno, Bugingo ng’asinziira ku kkanisa ye, eya House of Prayer Ministries International e Makerere, yalangirira nti mu October w’omwaka guno, mu kiro ky’ameefuga e Namboole, buli ayagala okumanya ku by’amaka ge, lwajja okubitegeera.

Bugingo yagamba nti, amaliridde okuwasa Nantaba ekiba kibe. Wano yayimirira butengerera ku katuuti n’agamba abagoberezi nti, essaawa yonna yali wa kubalaga omugole. Yabuuza nti, ‘Ndeete Ndeete,’ ne baddamu nti, ‘leeta’ olwo n’ababuuza oba banaamusonderako ku z’embaga.

Yagamba nti, ye Katonda yamutonda kugenda mu maaso tamutondako kudda mabega n’agamba abagoberezi be nti agenda kukuba embaga makeke ekiba kibe. Abagoberezi omukolo gwabanyumidde era abamu mu kifo ky’okwetegereza abatikkirwa, obwedda bali mu kutunuulira Suzan Nantaba nga buli kyakola bakitaputa.

Nantaba bwe yayimiridde n’assa omukono awo wansi nga ku lubuto ne batandika okwekuba obwama nti akikoze ng’omumbejja Omumerika Meghan Markle bwe yakola ng’ali lubuto oluvannyuma lw’embaga ye n’Omulangira Harry. Kino baakitapuse nti Suzan yandiba ng’ali mu mbeera eyo n’okunyirira kw’aliko naye ye obwedda ebigambo by’aboogezi tabiriiko anyumirwa mukolo.

ALINZE KKOOTI KUMUGATTULULA NA TEDDY

Bino we bijjidde nga Paasita Bugingo yasaba dda kkooti emugattulule ne mukyala we Teddy Naluswa gwamaze naye emyaka egisoba mu 20 mu bufumbo obutukuvu. Bugingo yawasa Teddy nga December 20, 2003 ku kkanisa ya Victory Christian Center mu Ndeeba era balina abaana bana (Doreen Gift Bujjingo 27, Winnie Treasure Bujjingo 22, Jennifer Blessed Bujjingo 19 ne Issac Miracle Bujjingo 4).

Ba Bugingo baali babeera bombi mu maka gaabwe agasangibwa mu KKB Zooni e Kitende naye Bugingo agamba nti amaka yagaddukamu emyaka munaana emabega ng’atya Teddy okumutuusaako obulabe. Alumiriza nti Teddy mukwambwe ekisusse era ayomba n’akunkumula ennyenje. Agamba nti omukwano gwe yalina eri Teddy gwaggwaawo dda era ne bwe kiba kki tebakyasobola kuddiηηana kubanga Teddy amutulugunyizza nnyo omuli okumuvumira mu maaso g’abaana baabwe ne mu lujjudde lw’ekkanisa.

Bugingo agamba nti nga August 10, 2015 bwe yamulaga endagaano y’okugula ettaka, Teddy yagimukuba mu maaso n’amuyita omulalu. Bugingo alumirizza nti ne Teddy tasiima, yeeyagalizza yekka, aswaza era yamuweerezanga obubaka ku ssimu ng’amuvuma nga yejjusa n’olunaku lwe baafumbiriganwa yadde nga ye yagezaako okumulaga omukwano ogw’ekimmemmette.

Wabula Teddy agamba nti ensonga eyatabula obufumbo n’omukwano gwabwe ya mukazi eyabayingirira era Bugingo bw’amuggyawo buli kimu kigenda kutereera. Agamba nti ye akyayagala bba era takkiriziganya nakyagattululwa kubanga mu bufumbo mubaamu ebiwoonvu n’ebisirikko.

Teddy mu kwewozaako kwe agamba nti yalayira okwagala bba Bugingo mu bulungi ne mu bubi, mu bugagga ne mu bwavu okutuusa okufa lwe kulibaawula era akyanyweredde ku birayiro bye yakuba okutuusa okufa.

Agamba nti ye ne bba Bugingo bayise mu mbeera embi okumala ekiseera ne basigala nga bakyali bombi era ne guno omuyaga oguliwo gujja kuteeka omukwano gwabwe guddewo nga bwe gwali. Kuno agattako nti Bujjigo alimba nti yava mu maka ge emyaka munaana emabega kyokka nga balina omwana ow’emyaka ena gwe baazaalira mu mukwano omuyitirivu.

Agamba nti bagezezzaako okugenda ew’omukugu akola ku by’okubuulirira naye ensonga zaaleema kubanga Bugingo olwamubuuza lwaki yasuulawo amaka ge yatabukira mu lukiiko n’aluvaamu ng’ayomba kubanga tayagala kumugambako. Teddy yagattako okuggulawo omusango omulala ku Bugingo ng’asaba kkooti ye Kajjansi ereme kuwulira musango gwa kubagattulula kubanga Bugingo yagutwala mu kkooti nkyamu.

Yaleeta mu kkooti olukalala lw’ebyobugagga bye balina omuli poloti 13 n’emmotoka ez’ebbeeyi n’agamba nti ebyobugagga bino bisukka mu kawumbi akamu era kkooti ento e Kajjansi terina buyinza buwulira musango gwa kika kino

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Netherlands1 220x290

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi...

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu...

Mus12 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Masasi1 220x290

Bakutte omujaasi ku kutta aba Mobile...

BULIJJO abantu bamulaba n’ekidomola ky’amazzi ekya kyenvu, nga balowooza nti aguliramu mmere ya bisolo.

Top31 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Det1 220x290

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu...

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu ku kyeyo