TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakristu bakubiriziddwa okukulembeza Katonda mu buli kyebakola

Abakristu bakubiriziddwa okukulembeza Katonda mu buli kyebakola

By Musasi wa Bukedde

Added 1st July 2019

Abakristu bakubiriziddwa okukulembeza Katonda mu buli kyebakola

Nak1 703x422

Bya Benadino Kate

ABAKRISITU bakubirizidwa okusooka okulowooza kwebyo katonda byayagala nga tebanakola kintu kirala kyona.

Bino byabagambidwa Rev Fr Simon peter Kikomeko bwanamukulu we kigo kya Ourlady of Fatima  Nakulabye bweyabadde akulembeddemu mmisa ku kisomesa kya St Kizito Sub parish Namungoona ku ssande ku lunaku lw'okujaguza olunaku lw’omutuukirivu waabwe Kizito omuto ate ssaako n'okuweza emyaka 36 bukyanga kisomesa kino kitandikibwawo.

Fr yagambye nti okwesiga katonda n'okusoosowaza ebyo byayagala yengeri yoka abakrisitu gyebasobola okutambula obulungi ate   ne kibayamba okunywerera mu ddiini awamu n'okukuza obulungi abaana.

Eyabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno Emmanuel Muwonge omusomesa ku Ndejje university yasabye abakiriza okwetanira okuwaayo ennyo  eri omukama kisobozese  bannaddiini okudukanya obulungi emirimu gya klezia.

Mungeri yeemu yagambye nti omukrisitu buli lwa waayo eri omukama ekyo kyawaddeyo kikubisibwamu emirundi mingi ddala   nayongera okufuna byabadde talina.

Kumukolo  guno abakrisitu basonze ssente  okuyambako omulimu gwebaatongozza omwaka ogwaggwa  ogw’okuzimba enyumba za bafaaza awamu ne woofisi ze klezia nga Muwonge eyabadde omugenyi omukulu yasonze 2,000,000/=.

Ye John Ssenkubuge Kisaawe ssabakrisitu we kisomesa kino yagambye nti,nga tujaguza  okuweza emyaka 36 esira tulitadde nnyo kukuzimba ekisomesa kino era nasaba abakrisitu bona okwenyigira mumulimu gw’okuzimba nga mutoola kwebyo ebitono byemulina

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...