TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Uganda ekoze endagaano y'okwekulaakulanya n'eggwanga lya Sierra leon

Uganda ekoze endagaano y'okwekulaakulanya n'eggwanga lya Sierra leon

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd July 2019

Uganda ekoze endagaano y'okwekulaakulanya n'eggwanga lya Sierra leon

Sr1 703x422

PULEZIDENTI Museveni agambye nti okutumbula obulungi eby’obusuubuzi mu Africa kyetaagisa okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka okuva e Kenya ku Idian Ocean okutuuka ku Pacific Ocean mu West Africa.

Abadde mu State House e Ntebe ng’ayaniriza pulezidenti wa Sierra Leon Julius Maada Bio azze mu Uganda ku bugenyi bwa nnaku satu.

Batadde omukono ku ndagaano satu okuli: Erambika enkolagana y’amawanga gombi, ey’okuwangana amagezi mu by’obufuzi n’okuggyawo obukwakkulizo obumu ku mitendera abakungu ba mawanga gombi gye balina okuyitamu okufuna viza.

Endagaano ebbiri minisita Sam Kuteesa yeyazitaddeko omukono ku lwa Uganda ey’okusatu minisita ow’ensonga z’omunda mu ggwanga Jeje Odong n’ateekako ate ku ludda lwa Sierra Leon minisita wabwe ow’ensonga z’ebweru.

Museveni  agambye nti ekisibye enkulaakulana mu Africa tewali lujegere lugatta mawanga gonna mu by’obusuubuzi kye bava baagala okuzimba oluguudo lw’eggaali y'omukka lugatte emawanga agawera.

Pulezidenti Julius Maada Bio yeebazizza Uganda olw’okuyamba eggwangalye mu mbeera ez’enjawulo kubanga ne bwe baalumbibwa ekirwadde kya Ebola, Uganda yaweerezaayo abasawo.

Omukolo gw’etabiddwako omuduumizi w’amagye David Muhoozi, akulira amakomera Johnson Byabasahija, poliisi yakiikiriddwa Asan Kasingye ne baminisita abalala baabaddeyo. Baasoose kwevumba kafubo ne bapulezidenti bombi olwavuddeyo ne boogera eri abamawulire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....