TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Etteeka ly'opugangisa ne bannannyini bizimbe abagagga balisimbidde ekkuuli

Etteeka ly'opugangisa ne bannannyini bizimbe abagagga balisimbidde ekkuuli

By Joseph Mutebi

Added 2nd July 2019

Etteeka ly'opugangisa ne bannannyini bizimbe abagagga balisimbidd ekkuuli

Gd1 703x422

Omugagga Kirumira ku ddyo ng'ali n'omugagga Ham ku kkono mu pulogulaamu y'akabbinkano ku Bukedde TV

ABAGAGGA b’omu Kampala banannyini bizimbe bongedde okusimbira etteeka ly’aba landi loodi n’abapangisa ekkuuli  nga bagamba nti ensonga bazitwala  wa Museveni kubanga ababaka ba palamenti kye bakoze okuyisa etteeka erisoosola mu bantu bagenderedde ku banyigiriza.

“Kibeera kya kutyobola ddembe lya nannyini kizimbe ekipangisibwa okumugaana okusasulwa ssente mu ddoola singa omupangisa we abeera bakkiriziganyiza naddala abagwira abava ebweru w’eggwanga ng’ate bannaffe abalala okuli aba woteeri ne bizinensi enddala okuli bbanka eziwola mu ddoola  bakkirizibwa okusasuza mu ddoola” bwatyo ssentebe w’abagagga Godfrey Kirumira bweyategeezezza.

Bino Kirumira yabyogeredde ku pulogulamu ya Bukedde TV eya Kabbinkano eyakubiriziddwa Noordeen Ntege , eyabaddewo ekiro ku mmande  okuva ssaawa 5: 00 okutuuka 6:45. Era nga kwetabiddwako n’omugagga Haji Hamis Kiggundu [Ham] gattako omwogezi wabapangisa Ahmed Kaweesi Bigali.

 

Kirumira yagambye nti eggulo olukiiko olukulembera abagagga banannyini bizimbe mu Kampala olwo ku ntikko baatudde n’abakugu mu byanfuna n'amateeka ne batema empenda ku ki ekiddako okusobola okulemesa etteeka lino lireme kugenda mu nkola kubanga linyigiriza omugagga, omunaku , ow’omu kibuga ne mu kyalo kasita obeera wazimba akayumbako n’okapangisa.

Twasazeewo nti ne wa Pulezidenti Museveni bwekinabeera kigaanye tugenda kugenda mu kkooti etaputa amatteeka Constitutional Court etapute etteeka lino olw’obutabeera lyenkanya gyetuli.

HAM: Nze etteeka sandibadde namutawana nalyo  kubanga mulimu abamu ku bannaffe abanyigiriza abapangisa baabwe wabula oky’okugaana ddoola ng’ate ffe abamu ssente tuzeewoola mu ddoola mu mawanga g’ebweru kibeera kifiiriza ebyenfuna bye ggwanga okugenda mu maaso.

“Si buli kizimbe oba kifo nti abapangisa tubasasuza mu ddoola kubanga abasinga okulwanyisa ddoola mu kibuga wakati basasula mu siringi eza wano naye eyo gye tubasasuza ddoola oluusi kibeera kyetagisa kubanga naffe ssente tuzewoola bweru wa ggwanga” Bwatyo Ham bweyategeezezza

Yayongeddeko nti mu Uganda bbanka ezisinga tezisukka kuwoola muntu ssente  ezisukka mu buwumbi 30,  ng’ate bw’oyagala okuzimba polojekiti enenne ng’ekisaawe kye Nakivubo eky’obuwumbi 149, olina kuzewoola bulaaya ate mu ddoola era nga ozizaayo mu ddoola kati lwaki abapangisa abatazirinako mutawana tebazitusasula naddala abazungu nga bazze mu nsi yaffe.

            Yayongeddeko nti etteeka lyakoleddwa mu busungu okwagala okwesasuza abantu aboolubatu ekintu ekikyamu kubanga ffe abamu tetulina mutawana nabapangisa bange ng’ate wano mu Uganda nze omu ku basinga okubeera nabapangisa abangi abasukka mu 2000, ku bizimbe byange naye sirina gwenkayana naye.

Yagambye nti kati palamenti gyeraaga ababaka batusse n’okugereka bbeeyi ye nnyanya omuntu gy’alina okugigulako ekitalina gye kitwala ggwanga mu maaso kubanga bw’ogoba ddoola mu ggwanga obeera otaatana ebyenfuna byalyo. Lwaki gavumenti yo yewoola ssente mu ddoola okuva ebwweru w’e ggwanga oba tezirina mugaaso.Ham yagambye nti abantu abamu tebaagala kukkiriza baabasinga ky’ova olaba nga abantu abamu bagamba nti ssente si  zange. “Nsaba bwebeerayo nannyini wazzo aveeyo abulire eggwanga” Bwatyo Ham bweyategeezezza.

AHMED KAWEESI BIGALI:  Nze ng’omwogezi w’abapangisa abegattira mu “Uganda Tenants And Squaters Association” Nsaba abagagga nga temunalwanyisa tteeka lino obutaliteekako mukono njagala tutule tukanye ku biyamba abapangisa n’abagagga mugende okutuuka okugenda ewa Museveni nga naffe mulina ekiwandiiko kyaffe.

Mulimu ebimu ebyayitidde ebinyigiriza kubanga ng’omu ku batandiika kaweefube wokuleeta etteeka lino okulwanirira abapangisa nali njagala bannansi bokka beebabeera  batasasula ssente za bupangisa mu ddoola wabula abagwira omuli abazungu n’abalala bo basasule mu ddoola naye kyonna bakigasse lumu.

Abagagga bonna sibaabi naye waliwo  bannabwe okuli Drake Lubega ne Yanga bayittirira okutigomya abapangisa baabwe batuuka n’okuggalawo ebizimbe byabwe ebisukka mu 30, okumala ennaku mu kibuga wakati olwokuba balina obutakkanya n’omugenzi Muhangi ekitali kituufu.

“Lumu Drake yamenya n’ekizimbe kye ku Nabugabo nayoonona ebintu bya bantu wabula twamutwala mu kkooti ne tumuwangula yagaana okutusasula” Kati abo babeera batya nga tewali tteeka libafuga neyerabira nti abapangisa ffe bakama baabwe.

Abagagga bamaliriza nga bateesa nti baagala etteeka eribakkiriza okukola endagaano n’abapangisa baabwe ng’agimenya wakati w’omupangisa n’omugagga atwale munne mu kkooti so sikutunyigiriza okutuuka ku mutendera guno

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans