TOP

Eggwanga lirimu nnamuginga - Lukwago

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd July 2019

Loodi meeya Erias Lukwago avumiridde ebikolwa by’abakulembeze ab’ebibiina eby’enjawulo okweyogereranga amafuukule ekibaviiriddeko okukola ebikontana n’emiramwa gy’ebibiina byabwe

Erias 703x422

Lukwago (ku kkono) ng’abuuza ku Nambooze (ku ddyo) mu lukuhhaana.

Bya JOANITA NAKATTE

Loodi meeya Erias Lukwago avumiridde ebikolwa by’abakulembeze ab’ebibiina eby’enjawulo okweyogereranga amafuukule ekibaviiriddeko okukola ebikontana n’emiramwa gy’ebibiina byabwe

Lukwago okwogera bino yasinzidde mu ttabamiruka wa DP mu munisipaali y’e Mukono mu maka g’omubaka Betty Nambooze e Nabuti, eyabadde ategekeddwa okwekubamu ttooki ku bwe bayinza okutereeza okusomoozebwa kwe basanze okuviira ddala mu kalulu ka 2016 ne bye bayinza okukola okwagazisa eggwanga ekibiina kyabwe.

Lukwago yategeezezza nti abamu ku bannabyabufuzi naddala ababaka ba palamenti ensangi zino bagufudde muze okusiiga bannaabwe enziro naddala eri pulezidenti n’ekigendererwa eky’okwagala okuyisaawo ebyabwe.

“Eggwanga lyaffe lirimu namuginga w’abantu abaakona mu nsonga z’ebyobufuzi be twetaaga okulwanyisa.Tulina obuvunaanyizibwa naddala abakulembeze okukozesa obuyinza bwaffe okubeera ab’amazima bwe tuba nga tukyatambulira ku mulamwa ogw’okukyuusa eby’obufuzi by’eggwanga  ku mutendera omutuufu.”Lukwago bwe yagambye.

Ye omubaka Betty Nambooze yakuutidde Bannayuganda okuva mu tulo basobole okusalira eggwanga lyabwe amagezi. Nambooze olukongoolo yalusibye ku bakulembeze bannakyemalira abantu be bateeka mu buyinza nga bano bagya n’ebigendererwa eby’okwekussa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....