TOP

Eggwanga lirimu nnamuginga - Lukwago

By Musasi wa Bukedde

Added 4th July 2019

LOODI meeya Erias Lukwago avumiridde ebikolwa by’abakulembeze ab’ebibiina eby’enjawulo okweyogereranga amafuukuule ekibaviiriddeko okukola ebikontana n’emiramwa gy’ebibiina byabwe.

House 703x422

Lukwago (ku kkono) ng’abuuza ku Nambooze (ku ddyo) mu lukuhhaana.

Lukwago okwogera bino yasinzidde mu ttabamiruka wa DP mu munisipaali y’e Mukono mu maka g’omubaka Betty Nambooze e Nabuti, eyabadde ategekeddwa okwekubamu ttooki ku bwe  bayinza okutereeza okusomoozebwa kwe basanze okuviira ddala mu kalulu ka 2016 ne bye bayinza okukola okwagazisa eggwanga ekibiina kyabwe.

Lukwago yategeezezza nti abamu ku bannabyabufuzi naddala ababaka ba palamenti ensangi zino bagufudde muze okusiiga bannaabwe enziro naddala eri pulezidenti n’ekigendererwa eky’okwagala okuyisaawo ebyabwe.

“Eggwanga lyaffe lirimu namuginga w’abantu abaakona mu nsonga z’ebyobufuzi be twetaaga okulwanyisa.

Tulina obuvunaanyizibwa naddala abakulembeze okukozesa obuyinza bwaffe okubeera ab’amazima  bwe tuba nga tukyatambulira ku mulamwa ogw’okukyusa ebyobufuzi by’eggwanga  ku mutendera omutuufu,”Lukwago bwe yagambye.

Ye omubaka Betty Nambooze yakuutidde Bannayuganda okuva mu tulo basobole okusalira eggwanga lyabwe amagezi.

Nambooze olukongoolo yalusibye ku bakulembeze bannakyemalira abantu be bateeka mu buyinza nga bano bagya n’ebigendererwa eby’okwekussa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbizzi1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

BW’OBA waakufuuka mulimi oba omulunzi ow’enjawulo tosooka kutunuulira ssente mmeka z’osuubi ra kufuna wabula lwana...

Zan13 220x290

Agambibwa okufera abantu emirimu...

Agambibwa okufera abantu emirimu akwatiddwa

Mutu 220x290

Muwala wa munnamagye Kyaligonza...

PAULINE Ntegeka abadde abeera mu Bungereza, ku Lwokutaana yabadde agenda mu kinaabiro n’aseerera n’agwa n’akubawo...

Netherlands1 220x290

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi...

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu...

Mus12 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa