TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abagambibwa okutta aba Mobile Money E Zzana balagidddwa

Abagambibwa okutta aba Mobile Money E Zzana balagidddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 6th July 2019

EKITONGOLE ekirwanyisa obutujju ekya Joint Anti Terrorism (JAT) bwe kigenze mu maka gabaakwatibwa ne kizuula ensawo y’omugenzi Harriet Nalwadda eyali owa mobile money eyakubwa amasasi gye buvuddeko n’omukozi we nga badda awaka.

Untitled1 703x422

Abamu ku baakwatiddwa

Gye buvuddeko ekitongole kya JAT kyakutte abajaasi babiri n’a bavuzi ba bodaboda babiri abagambibwa okutta Nalwadda n’omukozi we Maureen Nakabubi gye buvuddeko, bwe baabakuba amasasi ne babaleka mu kitaba ky’omusaayi e Zzana.

JAT okukwata abantu bano, yasooka kukwata Stanely Mulunda amanyiddwa nga Fank Jjumba Ssaalongo gwe baakwatira mu nnyumba e Masanafu oluvannyuma lw’abatuuze okwekegera abantu bano mu kitundu.

Kyokka ekitongole kya Flying Squad ne kirwanagana n’ababbi bano ne kikwata Mulunda ate Richard Kasirye agambibwa okuba n’emmundu n’adduka.

Ono Mulunda gw’alumiriza nti musirikale w’amagye akola e Bombo. JAT yayongera okukunya Mulunda oluvannyuma lw’okumusaga n’ekipapula okuli amannya ng’abaserikale, kkooti be yali yata ku misango egy’enjawulo.

Mulunda yalonkoma abajaasi babiri okuli; Dennis Mangusho amannyiddwa nga Ssewakambo ng’ono yali w’amagye n’agaddukamu ne Robert Bob Onechan naye yali mujaasi. Bano baakwatibwa mu bbaala ya Happy Boys e Namasuba era poliisi n’ekuba amasasi mu bbanga bwe bali bagezaako okudduka.

Abakwate bano baalokoma omuvuzi wa bodaboda Isaac Ntale eyabavuga nga bamaze okutta Nalwadda, ng’ono mutuuze w’e Nalumunye.

Yakwatiddwa era mu nnyumba ye mwasagiddwaamu ensawo y’omugenzi Nalwadda ng’eriko ekituli ky’essasi we lyayita nga bakuba Nalwadda n’omusaayi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono