TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri omuyizi w’e Kyambogo gye yasse akulira babbulaaza

Engeri omuyizi w’e Kyambogo gye yasse akulira babbulaaza

By Musasi wa Bukedde

Added 6th July 2019

OMUYIZI wa Yunivasite e Kyambogo atemyetemye eyali omusomesa we, n’amutta. Robert Asiimwe 23, yasse Br. Nobert Emmanuel Mugarura 45, abadde akulira Bannakalooli mu Uganda.

Funa 703x422

Asiimwe eyaggaliddwa. Ku ddyo ye Br. Mugarura eyattiddwa

Bro. Mugarura ku Lwokubiri lwa wiiki eno yasiibudde banne e Kiteredde n’ajja mu Kampala okwetaba mu lukiiko nga yali na wakugendako e Kyambogo ku Yunivasite akyalire ku muyizi we gwe yaweerera okuva mu siniya.

Omugenzi bwe yatuuse mu Kampala, emmotoka ye yagirese ku Lutikko e Lubaga n’alinnya bodaboda okugenda e Kyambogo ew’omuyizi we, Asiimwe.

Poliisi n’okutuusa kati ekyanoonyereza ekyavuddeko omuyizi ono okutta munnaddiini mu bukambwe.

Asiimwe alabika ng’eyabadde yeetegese okukola ettemu lino. Kigambibwa nti yabadde n’omuntu omulala ne batta munnaddiini ono.

Omugenzi yatemeddwaako emikono, amagulu, n’ebiwundu ebirala eby’amaanyi ku mutwe n’ebitundu by’omubiri ebirala.

Olwamaze okumutta, baamuzinze mu ttundubaali ne bagenda ku siteegi e Banda gye baggye akamotoka ka kabangali ne bategeeza ddereeva nga bwe balina ebisaaniiko bye baagala abatwalire awantu babisuuleyo.

Ddereeva wa mmotoka bwe yazze, yeekengedde ekitereke kyebaabadde bamutisse ekyabadde kirabika ng’omulambo. Era wano yaggyeeyo ssimu ye n’akubira poliisi eyazze n’ezuula nti guno gwabadde mulambo kwe kukwata Asiimwe.

Mu kusooka, poliisi teyategedde nti omugenzi yabadde muntu wa buvunaanyizibwa nnyo era omulambo yagututte mu ggwanika n’egusuula eyo.

Kyokka okuva omugenzi lwe yava e Masaka, banne babaddenga bakuba ku ssimu ye nga teriiko.

Oluvannyuma baakubidde ku bbulaaza munnaabwe abeera e Kampala, ayitibwa Simon Peter Nalintya eyatandise okunoonya era mu kunoonyereza kuno mwe yafunidde amawulire nti waliwo omuntu eyattiddwa e Kyambogo.

Bwe yagenzeeyo, yakizudde nti omuntu waabwe yabadde attiddwa kwe kugenda e Mulago okukebera omulambo nga gwe gwa Br. Mugarura gwennyini.

N’okutuusa kati babbulaaza bakyebuuza omuvubuka ono kwe yasinzidde okutta munnaddiini eyamusomesa okutuuka e Kyambogo gy’ali.

Omugenzi yatandika okuyamba omwana ono, ng’akyali mukulu wa ssomero lya St. Charles Lwanga e Kitebi mu Bushenyi.

Oluvannyuma lw’amawulire gano entiisa yabuutikidde bannaddiini Bannakalooli Brothers e Kiteredde mu disitulikiti y’e Kyotera mu ssaza ly’e Masaka nga beewuunya ekyavuddeko okuttibwa mu bukambwe obwenkanidde wano.

Ono yabadde Ssenkulu waabwe (Superior General) . Abadde addirira omugenzi, Br. Ezidoolo Luyinda yagambye nti omugenzi yatuuzibwa ku ntebe y’okukulira Bannakalooli mu January wa mwaka guno ng’ekisanja kye kibadde kyakuggwako mu 2025.

Omugenzi asuubirwa okuziikibwa ku Mmande ya wiiki ejja.

Poliisi yagguddewo fayiro nnamba SD31/03/07/2019, ng’okunoonyereza kugenda mu maaso.

Mu April w’omwaka oguwedde, eyaliko omukulu w’ekifo ky’e Kiteredde, Bro. Leandro Mutebi yasangibwa afiiridde mu buliri kyokka abasawo baategeeza nti yafuna ekizibu ku mutima ekyamuviirako okufa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono