TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bbanka eraalise omugagga wa Senana okutwala ebyobugagga bye

Bbanka eraalise omugagga wa Senana okutwala ebyobugagga bye

By Musasi wa Bukedde

Added 6th July 2019

OMUGAGGA wa w’omu Kampala, Fridah Nabirongo, nannyini Senana Investments Ltd, asattira oluvannyuma lwa bbanka ya Standard Chartered Bank, okumulaalika okutwala ebyobugagga bwe byonna ssinga aba tabasasudde ssente ze bamubanja, obuwumbi 32, mu nnaku ttaano.

Senana0 703x422

Ekizimbe kya Senana ekiri ku Buganda Road. Mu katono ye mugagga Nabirongo

Nabirongo, agamba nti, ssente ezimubanjibwa tamanyi ngeri gye zaaweramu kubanga waliwo obukodyo bungi aba bbanka bwe bazze bakola n’ekigendererwa ky’omutwalako ebintu bye.

Agamba nti yeekubira enduulu mu kkooti y’ebyobusuubuzi kyokka omusango gubadde gukyagenda mu maaso ate aba bbanka ne bamuweereza ebiwandiiko nga bamugamba nti ebintu bye bagenda kubitwala bw’aba tabasasudde mu nnaku ttaano.

Agamba nti mu kusooka yali yeewola ssente obuwumbi 20, n’obukadde 500, okuva mu bbanka y’omugagga Sudhir Ruparelia, eya Crane Bank (eyaggalwa), kyokka olw’obwetaavu bwe yalina, yali yeetaaga ssente endala okutambuza emirimu gy’okumaliriza ekizimbe kye ekiri ku luguudo lwa Buganda Road. Yatuukirira aba bbanka ya Standard Chartered Bank, ne bakkiriza nti, basobola okusasula bbanka ya Crane Bank, ne bamwongera ssente z’ayagala.

“Aba Crane Bank baali bampa emyaka kkumi okusasuliramu looni yaabwe, kyokka oluvannyuma nneewuunya aba Standard Chartered Bank okulaba nga ku biwandiiko byabwe baali bampadde ennaku 150 gy’emyezi etaano okusasuliramu obuwumbi mukaaga n’obukadde 500,” Nabirongo, bwe yategeezezza.

 mugagga abirongo Omugagga Nabirongo

Ayongerako nti, mu kwewola mu Crane Bank, yasingayo ekyapa kya poloti y’oku Buganda Road, (FRV 355 Folio 21 plot 21-27) era kye kyapa kye kimu kye yasinga mu Standard Chartered Bank bwe yali egula looni ya Crane Bank.

“Kyokka waliwo ssente endala ze nnali nsabye mu bbanka Crane Bank obuwumbi obulala mukaaga ne sizifuna nga bandwisa. Waliwo bbulooka wa Standard Chartered Bank gwe nayogerako naye n’antegeeza nti, bbo basobola okumpa ssente zino singa mbongera ebimu ku byapa byange ne mbawa ebyapa ku ttaka lyange okuli, Kibuga Block 3 Poloti 57, 701 ne 702 e Makerere ne Kibuga Block 20 poloti 1067 e Busega kyokka ssente tebazimpanga ate ng’ebyapa nabiwaayo”, Nabirongo bwe yategeezezza.

Nabirongo alaajanidde abakulu ba Bbanka ya Uganda Enkulu, Pulezidenti Museveni n’abalala abakwatibwako okuvaayo bamutaase, kubanga bbanka eyagala kutwala eby’obuggagga bwe nga teyise mu mitendera mituufu.

Ayongerako nti waliwo lwe baasisinkana Gen. Salim Saleh, ng’abasuubuzi mu Kampala, olw’am’abanja agaali gabatuuse mu bulago era n’abasuubiza okubayamba kyokka bakanze kulinda naye nga tebayambibwa.

Omugagga wa Senana ayongerako nti buli mwezi abadde asasula ku bbanja lya bbaanka eno ssente 700,000,000/-, kyokka oluvannyuma yakizuula nga waliwo obukujjukujju abakola mu bbanka eno lwe baakola mu biwandiiko bwe baali bamuwa looni yaabwe ne bongeramu ssente n’obukwakkulizo bw’ataategeera.

Agamba nti waliwo ebyapa ebirala bisatu bye yali yateeka mu bbanka ya Orient, nti kyokka aba bbanka ya Standard Chartered Bank yabakkiriza okugendayo bafune ssente mu linnya lye bbiriyoni emu ne zigenda ku ddibu eryali ku akawunti ye mu Standard Chartered Bank eyo ddiiru n’eggwa.

 kiwandiiko ekiraalika abirongo nti ebintu bye babitwala Ekiwandiiko ekiraalika Nabirongo nti ebintu bye babitwala.

Ayongera okugamba nti, yali asuubira okumwongera ssente bbiriyoni nga mu ddiiru eno bbanka ya Orient Bank eba yeegatta butereevu, ku musingo gw’ekyapa (awali ekizimbe kya Senana) nga buli ssente z’alina okuzzaayo Orient Bank yali efunako ebitundu 15 ku buli 100 ate ezisigadde nga za Standard Chartered Bank.

“Ebintu byatandika okuntabula nga sikyategeera bigenda mu maaso. Nnawandiikira abakulira Standard Chartered Bank naye tebanziramu ate nga ne bbulooka eyakolanga ku looni zange nga bbanka eno yagivaamu dda”, Nabirongo bw’ayongerako.

Nabirongo agamba nti mu kiseera kino yasazeewo kufumba mmere na migaati, okusobola okubeerawo olw’ensonga nti embeera gy’alimu nzibu ddala.

“Teebereza kati abandeetera ebintu bye ntunda mu dduuka bampola biwole, oluvannyuma ne ntetenkanya okubasasula”, Nabirongo bwe yategeezezza.

Ayongerako nti, alina abakozi b’akozesa abasukka mu 100, kati emirimu gyabwe giri mu lusuubo ate nga y’omu ku basinga okusasula emisolo mu ggwanga.

“Nagendako mu Uganda Development Bank (UDB) Gavumenti gye yassaawo okusobola okuyamba abasuubuzi nga basasula amagoba matono naye nayo nagendayo ne sifuna kuyambibwa kwonna. Nsaba Gavumenti eveeyo ennyambe nneme kufiirwa bintu byange bye nkoledde emyaka emingi nga sirina gwe nzibye, bireme kutwalibwa”, bw’agamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...