TOP
  • Home
  • Aga wiiki
  • Abazadde muyambe ku Gavumenti mu kusomesa abaana

Abazadde muyambe ku Gavumenti mu kusomesa abaana

By Musasi wa Bukedde

Added 6th July 2019

Abazadde b'e Mukono muyambeko Gavumenti mu masomero gaayo musobole okusitula ebyenjigiriza mu disitulikiti

Ssenyonga001webuse 703x422

Ssenyonga ng'aliko ensonga z'annyonnyola mu lukiiko

Bya Madinah Sebyala

Ssentebe wa Disitulikiti y’e Mukono awadde abazadde obukodyo bw’okuweerera abaana baabwe. Ssentebe Andrew Ssenyonga, yagambye abazadde bafuuke ba maneja, Katonda abeere Dayirekita nga mu kino basooka ne bamwanjulira kye baagala abaana baabwe batuukeko olwo bo basigale nga bakola n’obutanyooma mirimu ng’eno bwe basaba Katonda okubawa ssente ezinaatuukiriza kye baagala abaana baabwe bafuuke.

“Ekiremesezza abazadde okuweerera abaana okutuuka ku ddala lye baagala kukola Malala ne beefuula buli kimu nga bamaneja ate badayirekita. Mmwe mukole olukalala lw’ebintu bye mwagala nga bamaneja olwo Dayirekita Katonda y’ajja okubawa ssente z’ebyetaago”, ssentebe Ssenyonga bwe yafalaasidde abazadde.

Yayongeddeko nti, okubeera ne ssente si kwe kuweerera omwana wabula weggyamu malala n’okukola nga bwe weekwasa Katonda olwo otuuke ku buwanguzi. 

Yabadde ku ssomero lya St. Joseph PS mu lukiiko olwayitiddwa akulira abalambuzi b’amasomero e Mukono, Rashid Kikomeko omwabadde abasomesa, obukiiko obugaddukanya ne bannabyabufuzi nga batema empenda z’okutumbula ebyenjigiriza mu Disitulikiti yaabwe.

Kikomeko yasabye abazadde okukolaganira awamu n’amasomesa bayambeko ku Gavumenti mu masomero gaayo naddala okuzimba kaabuyonjo n’akabatema nti teri ssente, okuggyako ez’okuzimba ebibiina n’okugula ebikozesebwa mu kusoma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo

Nyiga 220x290

Ente 2,000 ze zifa buli mwaka mu...

ABALUNZI mu bintu by’e Ngoma bakubidde gavumenti omulanga okubayamba ku kusoomoozebwa kw’amazzi okubakosa ennyo...