TOP
  • Home
  • Aga wiiki
  • Aba Namilyango Junior Boys School banoonya buwumbi ez’ekizimbe

Aba Namilyango Junior Boys School banoonya buwumbi ez’ekizimbe

By Musasi wa Bukedde

Added 6th July 2019

Abaasomerako mu Namiryango Junior Boys School basonze bukadde okumaliriza ekizimbe ekikyabanja obuwumbi.

Boy3webuse1 703x422

Abayizi n'abaasomerako mu Namilyango Junior Boys School nga basala keeki

Bya Madinah Sebyala

Abaasomerako mu ssomero lya Namiryango Junior Boys School basonze obukadde 14 ku buwumbi obubiri obwetaagibwa okumaliriza ekizimbe eky’emyaliriro esatu kye bazimba mu kiseera kino ku ssomero.

Ekizimbe kino kyakumalawo buwumbi, era ku ssente ezaasondeddwa kuliko ez’obuliwo n’eziri mu bisuubizo.

Mu baasomerako ku ssomero lino mwe muli n’eyaliko omusawo wa ttiimu y’eggwanga Uganda Cranes, Dr. JB. Ntege Ssengendo ng’ono yaliyo eyo mu gya 1949.

 r  tege sengendo ku  kkono nakulira essomero lya amiryango oys unior chool r mmaculate abukalu ku mukolo gwokusonda ensimbi ezokuzimba Dr. JB. Ntege Ssengendo (ku kkono) n'akulira essomero lya Namiryango Boys Junior School, Sr Immaculate Nabukalu ku mukolo gw'okusonda ensimbi ez'okuzimba.

 

Omukulu w’essomero lino, Sr. Immaculate Nabukalu yabeebazizza kyokka n’asaba abazirakisa abalala okubadduukirira ku mulimu gwe baliko nga kati beetaaga obuwumbi bubiri.

Yayongeddeko nti, ekizimbe kye bazimba kya myaliriro esatu nga kugenda kubeerako ebibiina, ofiisi y’omukulu w’essomero n’abasomesa, etterekero ly’ebitabo n’ekifo abasomesa n’abayizi we bagenda okukolera okunoonyereza ku bisomesebwa n’ebigenda mu maaso mu ggwanga ne mu nsi yonna.

Yayongeddeko nti, mu kusooka baasonda ssente ezisoba mu kawumbi kalamba era nga guno gwabadde mulundi gwakubiri wabula tebyagenze bulungi kyokka ate we batuuse gwe mulimu ogusinga amaanyi n’asaba abantu okumukwasizaako okulaba nti ekizimbe bakimaliriza mu mwezi gwa October omwaka guno nga bagendera ku ndagaano gye baakola ne kkampuni enzimbi eyapatana omulimu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...

Ssengalogo 220x290

Lwaki saagala kwegatta?

NNINA ekizibu saagala kwegatta na musajja yenna. Mu kusooka nnali ntya siriimu naye kaati ntya abasajja saagala...

Ssengalogo 220x290

Mukyala muto alumba omukulu

SSENGA nnina bakyala ababiri, naye omukyala omuto alina ekizibu nti ayagala nnyo okulumba munne ate nga nabagamba...

Babirye1703422 220x290

Kkooti egattuludde Judith Babirye...

OMUBAKA Paul Musoke Ssebulime 45, yeegaanyi omwana wa Judith Babirye n’agamba nti ye talina mwana yenna mu Babirye....