TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ezudde ekifo we batemera bodaboda enzibe e Katwe

Poliisi ezudde ekifo we batemera bodaboda enzibe e Katwe

By Musasi wa Bukedde

Added 7th July 2019

ABASUUBUZI ba sipeeya wa pikipiki e Katwe basattidde poliisi bwe yabazinduukirizza n'efunza amaduuka gaabwe mwe yakwatidde pikipiki ne sipeeya waazo ebigambibwa okubeera ebibbe.

Twala 703x422

Ezimu ku nnamba puleeti za pikipiki ezabbibwa ku bannyinizo.

Ekikwekweto kino kyakoleddwa ku Lwokutaano nga poliisi y'e Katwe yali yatemezebwako abantu ab'enjawulo abaalumiriza nga bwe waliwo pikipiki ezitemebwa sipeeya n'endala nga zikyusibwa ebiwandiiko n'okufuuyirwa langi oluvannyuma ne zitundibwa mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti poliisi yatemezebwako wiiki bbiri eziyise nga bwe waliwo abatema pikipiki e Katwe mu Wansanso zooni okuliraana ekizimbe kya Muganzirwazza n'okuzikyusa ebizikwatako ne baddamu okuzitunda.

"Twasazeewo okukola ekikwekweto e Katwe mu Wansanso zooni kuba twafunye amawulire nti waliwo pikipiki eziteeberezebwa okubeera enzibe ze batema sipeeya ne baddamu okuzitunda era tuzudde ebintu bingi omuli ne nnamba puleeti nga be baasanze nazo tebasobola kunnyonnyola ngeri gye baazifuna.

Yagambye nti abaserikale baazudde ebintu eby'enjawulo omuli nnamba puleeti za pikipiki ng'ezimu zabbiddwa oluvannyuma ne bazisuula mu kaabuyonjo e Busabala n'ennyondo ezigambibwa okukozesebwa okukuba abavuzi ba pikipiki.

Yategeezezza nti poliisi yafunye obujulizi nti mu zooni ya Wansanso we watuukira pikipiki enzibe kuba waliwo ababbi baazo abaakwatibwa ne ku Arua Park mu Kampala wakati ne bakkiriza nti babbi.

Poliisi yakoze ebikwekweto munaana n'okuzuula pikipiki ezisoba mu 20 eziteeberezebwa okubeera enzibe.

Pikipiki ezaazuuliddwa waliwo abantu abaagenze ku poliisi e Katwe ne babaako ze basongako nti zaabwe.

Huzairu Lutaaya yazudde nnamba ya pikipiki ye UEB 823Y nga pikipiki baagimubbirako Kawempe ku muzikiti gye yali agenze okusaala nga June 24, 2019 n'aggulawo omusango oguli ku fayiro nnamba SD: 59/24/06/2019 ku poliisi e Kawempe.

Ku Lwokutaano poliisi yazzeeyo mu Zooni ya Wansanso n'eyongera okwaza amaduuka n'ezuula pikipiki endala nga nazo ziteeberezebwa okubeera enzibe.

Poliisi we yakoledde ekikwekweto kino ng'abazigu baakatta omuvubuka Derrick Mulindwa gwe baapangisizza okubatwala e Kakeeka ne bamwefuulira ne bamukuba akatayimbwa ne bamwasa omutwe era ne bamutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....