TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyakubibwa abasomesa yeetaaga bukadde okumulongoosa omugongo

Eyakubibwa abasomesa yeetaaga bukadde okumulongoosa omugongo

By Musasi wa Bukedde

Added 7th July 2019

OMWANA Emmanuel Kitimbo 14, agambibwa nti abasomesa b’essomero lya Trust Day and Boarding P/S e Namwendwa mu Kamuli baamukuba emiggo ne bamukutula omugongo, embeera ye yeeyongedde okutabuka nga kati eddwaaliro lisabye obukadde 20 ez’okumulongoosa omugongo.

Funayo 703x422

Kitimba ng’ali ku kitanda mu ddwaaliro.

Abasomesa abagambibwa okutulugunya omwana ono kuliko; Juliet Mubeezi ne George Kalangala.

Kitimbo ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Canan Medical Centre e Kyaliwajjala mu munisipaali y’e Kira.

Dr. Kasango atwala eddwaaliro lino, agambye nti omwana ono mu ddwaaliro amazeemu wiiki bbiri era okumutwalayo, baali basuubira nti ayinza okuyunga nga bayise mu nkola ya dduyiro, naye bwe yamututte mu bifaananyi, baakizudde nti baamumenya enkizi n’eggumba ly’omu mugongo nga yeetaaga kulongoosebwa.

Omwana ono agamba nti abadde muyizi wa kisulo mu kibiina ky’omusanvu.

Abasomesa okutuuka okumukuba, baamuteebereza okuba nti, abbye ssukaali wa munne ate nga ye yamuyamba kulonda kasumuluzo ng’akasudde okumala olunaku lulamba.

‘‘Muyizi munnange bwe yagenda mu ofiisi okuwaaba ne bamubuuza gw’asanze n’akasumuluzo, n’ampaayo kwe kumpita ne batandika okunkuba ate nga nange nnakalonda bulonzi”, Kitimbo bw’agamba.

Ayongerako nti baamusamba ne bamukuba okumala essaawa ssatu ayogere ekituufu. Oluvannyuma baamuzza eka nga takyasobola kutambula afune obujjanjabi.

Kitimbo agamba nti takyawulira bubi nga bufuluma, bimuyitamu buyisi, ka gubeere musulo era takyasobola kutuula wadde okuyimirira.

Maama wa Kitimbo, Edisa Mudoola ow’e Nalango - Bulondo mu ggombolola y’e Namwendwa mu disitulikiti y’e Kamuli, agambye nti omwana we amaze n’obuvune kati emyezi esatu, naye tewali kikyukako okuleka okweyongera okubeera obubi.

Wabula ekimwewuunyisa, essomero terifangayo kumanya mwana bimufaako.

Ofiisa wa poliisi ASP Gad Nfitundindi akola ku nsonga z’abaana ku poliisi e Kira asabye gavumenti eteekewo ebibonerezo ebikakali ku basomesa abatulugunya abayizi, era nabo ng’ekitongole, bafuba okulaba nga wabaawo obwenkanya, era n’agamba nti omusango gwa Kitimbo guli mu kkooti.

Kitimbo asabye abalina obuyamba bamudduukirire nga babuweereze ku 0795263936 asobole okukola ebigezo bye ebya P.7.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono