TOP

Famire etabuse n’omusika lwa ttaka

By Moses Lemisa

Added 9th July 2019

ABA famire ya Sekyene bazze bagugulana, bagenze mu ofiisi eziwerako okubataawulula ne birema okutuusa Mulajje bwe yaddukira mu kkooti e Makindye.

Lwana 703x422

Nnamwandu wa Sekyene mu lusuku olwasaayiddwa.

Mu kiro ekyakeesezza ku Ssande aba famire baalumirizza Mulajje okusindika bakanyama abaabadde n’ebiso, amafumu n’obusaale ne basaawa olusuku oluli ku ttaka ly’omugenzi ekyawalirizza aba famire okukuba enduulu abatuuze ne babadduukirira okukkakkana nga bakanyama baduse ne babasuuza akasaale.

Ku Ssande ku makya aba famire baalumbye muganda waabwe Gladys Nabankema gwe balumiriza okuba mu lukwe ne Mulajje ng’era bakanyama buli lwe bajja okusaawa ebirime basookera wa Nabankema oluvannyuma ne balumba. Ono yabyegaanyi n’agamba nti talina ky’amanyi.

Alice Nassanga Sekyene, nnamwandu w’omugenzi Sekyene yategeezezza nti yafumbiriganwa ne bba mu December 1977 n’amuzaalamu abaana 14, abana ne bafa nga kati waliwo 10. Omusika Mulajje yamuzaala mukyala mulala.

Yagasseeko nti omugenzi yafa mu 2011 oluvannyuma lw’okulwala Kkansa ebbanga eddene.

Nassanga yagambye nti, omugenzi yalina ettaka erimu nalitunda, eddala n’agabirako batabani be babiri okuli David Sisagirwako ne Richard Mulajje (omusika ). Ono kati y’ayagala okweddiza ettaka lyonna okuli ebiggya n’amaka.

Nassanga yagambye nti Mulajje yajingirira ebiwandiiko ebiraga nti omugenzi yafa kikutuko, teyalaama, yaleka amabanja nga kw’asinziira okwagala okutunda ekitundu eky’ettaka okuli n’ebiggya .

“Ekiraamo tukirina era kyavaayo mu lumbe ne kisomwa mu lujjudde ng’omusika ye Mulajje kati asinziira okugamba nti kitaawe teyaleka kiraamo. Mulajje agamba nti kitaawe yamuwa poloti mu bulamu wabula mbu yamuwa katono kati ayagala afune ku mugabo ng’owana.

Wabula omugenzi okusinziira ku kiraamo yagaana okutunda ng’agamba nti buli alemwa ensi akomewo ku ttaka. David Sisagirwako, muganda wa Mulajje yategeezezza nti takkiriziganya naye kuba kitaabwe yabawa poloti ng’akyali mulamu.

‘Taata waffe yatugamba nti obuzaale bwabwe bwasaanawo ye n’asalawo okugula ettaka n’atugaana okutunda n’okutemaatemamu poloti nti buli omu afuneko ekikye’, bwe yagambye.

Rose Matovu, ssentebe w’ekyalo kino yategeezezza nti ensonga zino azimanyiiko ng’era ey’okusaawa olusuku yasindiseeyo abaakakiiko okugenda okuzuula ekituufu.

Yagambye nti Nabankema yagenze ku LC ne yeekubira enduulu nga agamba nti baganda be baamulumbye n’emiggo okumukuba nga bamulanga okwekobaana ne Mulajje okutunda ettaka.

Mulajje yategeezezza Bukedde ku ssimu nti ensonga ezimwogerwako ez’okusindika bakanyama talina ky’azimanyiiko.

Yagasseeko nti ensonga ziri mu kkooti era aba famire baasooka kutuula ne balonda abantu bataano okulabirira ebintu by’omugenzi. Yagambye nti maama waabwe oluvannyuma eyeefuula ng’agamba nti y’alina

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...