TOP

Aba ttiimu ya Buddu babonerezeddwa

By Moses Kigongo

Added 9th July 2019

Aba ttiimu ya Buddu babonerezeddwa

Sap1 703x422

Abakakiiko akaddukanya amasaza nga bali mu lukung'aana lwa bannamawulire

AKAKIIKO akaddukanya empak za Masaza kabonereza ttiimu ya Buddu olw’ebikolwa by’effujjo ebyaviirako amagye ne poliisi okukuba amasasi mu bawagizi bayo okukakana ng’abantu 7 bafunye ebiweundu n’omu Robat Kabirye okufiirawo.

Bino byabadewo ku Lwokubiri ku makya mu lukiiko lwabanamawulire olwatuuzidwa mu offiis ya minisita w’ebyemizannyo Henry Kiberu Ssekambe.

Mu bimu ku bibonerezo ebyaweredwa ttiiu eno mwabademu ekyokugisasuza engassi ya bukadde 5,okugisalako obubonero 2 ne ggoolo bbiri,okukaliga maneja wayo David Byaruhanga emipiira 2 n’okusasula emitwalo 40 egy’okuggula endabirwaamu y’emmotoka egambiwba okubeera nga yayonoonebwa mu kavuyo akaliwo.

Mu biralala mwabademu ekyokuwaayo abawagizi bayo bonna abalumirizibwa okwetaba mu fujjo lino wamu n’obutakyaliza ku kisaawe kyayo(ekya Masaka Recreation) omupiira gwabwe ne Mawokota ogubade ogw’okuddingana .Era nga gwakuzannyirwa e Namboole awatali bawagizi kukirizibwa kuyingira mu kisaawe kino.

Mawokota nayo bagibonereza ;

Mungeri y’emu ttiimu ya Mawokoa nayo bagibonereza akakiiko bwe kagobye James Kigingi mu kifo kyatwala ebyokwerinda ku lukiiko olukulembera ttiimu eno(Mawokota) olwa kye bayise okulagajjalira omuli gwe nebaleka abawagizi ba Buddu okuyingiza ebisi okwali; amaccupa n’ebiralala.

Embeera eno okusinziira ku Sulaiman Ssejjengo (akulira akakiiko kano) yategeezeza nti kino bakikoze oluvanyuma lw’akakiiko akateekebwawo offiisi ya minister w’ebyemizannyo okukomekereza okunoonyereza kwako nga Buddu yezuulidwa okubeera emabega w’efujjo eryakolebwa ku kisaawe e Mawokota.

Era nawera ng’akakiiko kakulembera  bwe katagenda kuguminkiriza bikolwa bya fujjo nga keyambisa amateeka ge kateekawo okusobola okukuuma ekifananyi ky’obwakakabak n’empaak za masaza nga kirungi. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo