TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abantu balumirizza ofiisa wa poliisi okubakanda ssente

Abantu balumirizza ofiisa wa poliisi okubakanda ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 10th July 2019

ABANTU ab’enjawulo bawadde obujulizi ku ofiisa wa poliisi eyakwatiddwa mu bubbi. ASP Bright Amutuhaire yeekobaanye ne banne ne bateega omusuubuzi okumubba kyokka n’akwatibwa ng’ali mu kikolwa.

Pala 703x422

Kulyaneza ow’amandaazi. Lugemwa owa Bodaboda

Amutuhaire okukwatibwa kyaddiridde omusuubuzi Tom Kisubika okwekubira enduulu nga ofiisa ono bwe yabadde yaakamubba emirundi egisukka mu gumu, abakuumaddembe kwe kumulondoola ne bamukwata ng’agezaako okubba omusuubuzi ono.

ABAMULUMIRIZA OKUBAKWATA N’ABAKANDA SSENTE BOOGEDDE

1 Benon Christmas Kulyaneza omusiisi w’amandaazi, agamba nti baamuggya ku kkanisa ya Redeemed life Church e Ngobe ne bamutwala ku poliisi ne bamuggulako omusango gw’okusobya ku muwala ow’emyaka 7 ye gw’agamba nti tamulabanganako.

Agamba nti yamala mu kaduukulu ennaku ssatu nga tatwalibwa mu kkooti era Amutuhaire bwe yalaba ng’omusumba we abiyingiddemu n’ayongera okukalubya embeera okutuusa mikwano gye bwe gyamuwa amagezi asabe poliisi okuleeta omujulizi mu musango guno era wano we baamusabira okuleeta ssente batwale omwana mu ddwaaliro akeberebwe.

“Mukyala wange ne mikwano gyange gyesondamu emitwalo 20 ne baziwa Amutuhaire ne batwala omwana mu ddwaaliro kyokka ne kizuulibwa nti tasobezebwangako. Amutuhaire bino byonna ye yali abipanga okundyako ssente,” bwe yamulumirizza.

2 Daniel Lugemwa ssentebe wa siteegi ya bodaboda eya Ngobe etunudde mu maaso ga poliisi eno agamba nti Amutuhaire abadde yaakamala ku poliisi eno emyezi nga mukaaga naye buli muntu abadde amukaaba olw’obukambwe.

Agamba nti lumu yabalumbako ng’ayagala kugobawo siteegi ya takisi ne bodaboda mu kitundu kino wabula oluvannyuma ne bakizuula nti ono yali ayagala kubalyamu kasente era bwe baatemya ku bakama be n’akikomya.

3 Paul Mugagga makanika w’amasimu ng’alina ne saluuni mu katawuni k’e Ngobe, Amutuhaire amuwanda lulusu. Agamba ku nkomerero ya May abavubuka basatu baamutuukirira nga balina ‘Flash’ ne bamusaba okubateerako ennyimba wabula agenda okugiteeka mu kompyuta ng’ejjudde kyokka ne bamulagira asiimuuleko buli kimu abateereko ennyimba era n’akikola ne bamusasula ne baawukana.

Wabula aba alyawo oluvannyuma lw’ennaku ssatu omukyala gw’atamanyi n’amulumba ng’ali n’omu ku bavubuka bali abasatu n’atandika okumukanda ebintu bye ebyali ku flash by’agamba nti kwaliko ebiwandiiko bye eby’omugaso ennyo ng’ebimu bya buyigirize.

“Omukyala nnamukaliramu ne mugamba nti ebintu by’ansaba abisabe oyo gwe yali azze naye era omukazi ono olwaddayo yadda na Amutuhaire nga ankwata ng’antwala ku poliisi ya Ngobe ng’anzigalira.

Yaggulawo fayiro nnamba SDREF:17/01/06/2019 ku musango gwa bubbi n’ansalira 5,000,000/- bwemba njagala okuva mu kkomera.

Bwe nagezaako okumubuuza mazima kiki ekinsasuza ensimbi ezo zonna, Amutuhaire yandabula nti bwe seegendereza ayinza n’okunteekako omusango gw’emmundu era mu kaduukulu nnamalamu ennaku ssatu okutuusa abantu bange bwe baatuukirira omunene omu mu gavumenti ne banta ku kakalu ka poliisi.”

Omu ku batuuze ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza nti poliisi eno erabika yateekebwawo kubbirako bantu kubanga bangi babadde bakwatibwa okuva mu bitundu ebirala ebirina poliisi ezibitwala ne basibirwa wano okumala ennaku awatali kubatwala mu kkooti era ng’abasinga batugamba nti okuvayo bamala kuwaayo ssente.

4 Vincent Balinnya omusuubuzi w’e Nateete ku Mabiito agamba nti ye baamukwata ssaawa 6:00 ez’ekiro okuva ku bbaala ye ng’abaamukwata kwaliko n’abasirikale okuva ku poliisi y’e Nateete era nga mu kumukwata baamutegeeza nga bw’alina emisango egimuvunaanwa n’abasibe abalala babiri abali mu kkomera e Kigo.

Agamba nti baamutegeeza nga fayiro y’omusango bw’eri ku poliisi ye Kajjansi kyokka kyamwewuunyisa okulaba ng’ate bamutwala ku poliisi ye Mutundwe ng’eno oluvannyuma baamuggyayo ne bamwongerayo e Ngobe gye yasula.

Amutuhaire yali omu ku baserikale abaamukwata era mu mmotoka baalinga balina abantu be boogera nabo ku masimu ekyamuleetera okulowooza nti waliwo olukwe okumunyaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...