TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mao ayise Nambooze ekiyenje ekyetaaga okufuuyira

Mao ayise Nambooze ekiyenje ekyetaaga okufuuyira

By Musasi wa Bukedde

Added 10th July 2019

OBUTAKKAANYA bwa Nobert Mao n’omubaka Betty Nambooze bweyongera buli lukya, Mao bw'ayise Nambooze ekiyenje ekyetaaga okufuuyira kiveewo.

Lukwago1 703x422

Abed Bwanika, Nobert Mao ne Mabike mu lukuhhaana lwa bannamawulire.

Mao yasinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire n’ategeeza nti ekibiina ky'akulembera kyalumbibwa ebiku, emisota, ebiyenje, enkwa n’emisege egyetaaga okuggyamu.

Yawadde eky’okulabirako ky’omubaka Nambooze gwe yagambye nti bafubye okumusembeza, kyokka ng’ebikolwa bye byonna birwanyisa ekibiina awo kwe kumuyita ekiyenje kye yagambye nti agenda kukifuuyira kiveewo.

Yakiraze nti Nambooze amaze ebbanga nga tabawagira ng’ekibiina, wadde nga ye abadde ateekamu obudde ne yeetoloola Mukono ng’amunoonyeza obululu.

Yasabye abeeyita bannakibiina okubeera abalambulukufu nga bwe baba tebakikkiririzaamu bakiveemu kubanga tekigasa okubeera mu bufumbo ng’obaliga.

Yategeezezza nti batandise okufuna eddagala okufuuyira ekibiina bagobemu enkukunyi ebiyenje, emisota ebiku enkwa nabuli kintu kyonna ekitawaanya ekibiina kubanga tosobola kwambala yinifoomu ya ttiimu eno ate n’osambira ttiimu ndala.

Yajjukizza nti DP eyaniriza buli muntu era mu mutima guno mwe baayaniririza Nambooze eyali owa NRM kakongoliro ng’atigomya n’abavubuka ba UYD.

Mu kutigomya kweyatigomya abavubuka ba UYD nakati Micheal Mabikke akyalina enkovu ku mukono gwe.

Teyakoma awo wabula yatuuka n’okuyungula abavubuka ne bayiwa piraawo waabwe ku mukolo gwe baaliko ekintu ekyasinga okubaluma. Mao yagambye nti olw'okuba DP erina omutima omulungi ,Nambooze baali bamusibidde ddala ku musango ogwokulya enguzi, ekibiina kya DP ne kiyungula balooya baakyo ne bamuyamba okumununula n’ava mu kkomera.

Olw'ekikola kyetwamukolera yasalawo okuyingira DP mu 2004. Twamuwa okubeera omwogezi w’ekibiina n’okumusimba mu kifo ky’obubaka bwa Palamenti oluvannyuma lw’okulagira munna DP Zirimala Kiggundu okuvaamu.

NAMBOOZE KY'AGAMBA

Nambooze aliko obubaka bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa facebook omutongole ng’ayanukula Christopher Okidi akulira abavubuka mu DP eyamwogeddeko mu ngeri efaanana eya Mao yamwanukudde nti; Mw. Okidi weetaaga okujja e Mukono nkubuulire ebinkwatako kuba n’omwaka gwoyogerako ogwa 1996 nali sikolera Mukono Town Council.

Ebigambo byonna ebimwogerwako nti yatabangulanga enkiiko za UYD yamuyise pokopoko wa byabufuzi byabukyayi ebisasaanyizibwa Okidi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...