TOP

Fresh Kid ne bazadde be balwanira bwassereebu

By Musasi wa Bukedde

Added 10th July 2019

OLUTALO lubaluseewo mu maka ga taata wa Fresh Kid nga taata, maama n’omwana buli omu ayagala kubeera ssereebu.

Mali 703x422

Maama wa Fresh Kid naye ateekateeka kutandika kuyimba. Ku ddyo ye Mutabaazi mu bbaala ya Fame e Kololo oluvannyuma lw’okuyimba.

W’osomera bino nga taata wa Fresh Kid yatandise dda okuyimba ne yeetuuma n’erinnya lya Fresh Daddy.

Yatandise okukuba omuziki ng’awoza nti naye ayagala kufuna ku mazike ng’era oluyimba lwe yafulumizza yalutuumye ‘‘Mazike’’.

Mzee Paul Mutabaazi eyali omusiizi wa cutekisi e Luweero ye yatandise okukooka nga n’ekivvulu kye ekyasoose kyabadde ku bbaala ya Fame Lounge e Kololo ku Mmande n’acamula abantu naddala abakazi ne bamuyiikira ne bazina naye amazina g’oyinza okuyita aga ‘Zigido’.

Taata olwayodde ku mazike ne maama wa Fresh Kid, Madrine Namata ekinyegenyege ne kimukwata.

Kati yeeyita Fresh Mummy n’aggulawo n’omukutu gwa ‘Facebook’ naye akole ku linnya ng’erya mutabani we atandike okulya ku mazike.

W’osomera bino nga naye yafunye omuntu amuwandiikira ennyimba yeeyozeeko ennaku ave mu by’okufumba emmere e Kawanda bba gye yamuleka ng’amulumiriza okubuuka n’omusajja omulala.

Wabula abantu baatandise dda okwogerera Fresh Daddy amafuukuule nga bw’abisse omwana Fresh Kid kyokka ye agamba nti ebyo tebimukwatako naye ali mu kweyiiya.

Gye buvuddeko yategeezezza Bukedde nti ekiwandiiko ekyakolebwa minisitule y’ekikula ky’abantu eyassibwako emikono teyagabanya bulungi ssente ze balina kufuna.

Agamba nti buli Fresh Kid lw’ayimba meneja Francis Kamoga akola ku by’okuyimba kwa Fresh Kid yasinga okufunamu.

Taata afuna ebitundu 20, maama 10, omwana 10 n’ebitundu ebirala 10 ku akawunti ye, maneja 20 n’ebirala 30 bya kkampuni ye eya Texas Management ekola ku by’okuyimba kw’omwana.

Taata agamba nti ebitundu bya maneja 50 ku 100 bingi ate nga ye taata y’asuza n’okuliisa omwana n’okumujjanjaba, okumutwala ku sssomero n’ebirala ekiraga nti afuna kitono nnyo.

Taata yatandise dda n’okwambala ‘bling bling’ w’abayimbi era alina essaawa ennene, essimu n’ekikomo eky’ebbeeyi. Bino we bijjidde nga mutabani we ali Dubai gye yayimbidde ku Ssande.

Okumanya taata wa Fresh Kid ayagala obwassereebu, yakola ka vidiyo nti “Amannya agange nze Paul Mutabaazi, taata wa Fresh Kid ssereebu, mwebale kuwatchinga Urban Tv’ akaaleeta abantu okumugeegeenya n’asanyuka olw’okumwogerangako ekyamwongedde amaanyi okuyimba.

Erya Fresh Daddy nga tannalyetuuma yasooka kweyita Don K. Bwongo wabula ne balimusuuza kubanga awandiika ennyimba za mutabani we ye 14 K Bwongo era ekyo nakyo kyamunyiiza.

‘Mazike’ yalukoledde mu situdiyo ya Kalifah Aganaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

Hat12 220x290

Bebe Cool atongozezza Kampeyini...

Bebe Cool atongozezza Kampeyini y'okulwanyisa TB oluvannyuma lw'okusaka ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi bubiri...

Freskid10 220x290

Fresh Kid akunze abato okweyiwa...

Fresh Kid akyaddeko ku kitebe kya Vision Group n'akunga abazadde okuleeta abaana baabwe mu kivvulu kya Toto Christmas...

Untitled4 220x290

Ow'emyaka 12 bamusse mu bukambwe:...

ABATEMU abatannategeerekeka bakkakkanye ku mwana abadde yaakawummula ne bamusobyako ne bamutta omulambo ne bagusuula...

Funa 220x290

Recho Rey naye engoye zimusiiwa...

OMUYIMBI Recho Rey yeerabidde okwambala engoye n’agenda mu kivvulu ng’ali mu kawale, akaleega n’agoye akalinga...