TOP

Omuyizi asoma P5 afi iridde mu kisulo

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2019

Omuyizi asoma P5 afi iridde mu kisulo

Gat2 703x422

Bulega bw’abadde afaanana.

TAATA yabadde yaakamala okukyalira omwana we ku ssomero, kye yazzeeko okufuna y’essimu nga Heedimasita amutegeeza nti: Omuzadde waffe, omwana waffe afunye obuzibu, yanguwa otusange mu ddwaaliro e Lubaga.

Hussein Kato yagenze kipayoppayo e Lubaga kyokka yaguddewo ekigwo ng’atuuse mu ddwaaliro ne bakamutema nti: Omwana bamuleese yafudde dda!

Kato omusuubuzi mu Kikuubo mu Kampala yasembye okubeera ne mutabani we Hytham Bulega 11, ku Ssande ewedde bwe yabadde agenze okumukyalira ku Buddo Kindergarten and Primary School ku lw’e Masaka. Kyamubuuseeko nga waakayita olunaku lumu ng’ayawukanye ne mutabani we, ate okumutegeeza amusange mu ddwaaliro; agenda okutuukayo nga bakamutema nti afudde!

BYE YASEMBYE OKUGAMBA KITAAWE Ku lunaku lw’okukyalira abayizi (VD) ku Ssande eno ewedde, Kato yasimbudde ewuwe e Gayaaza n’agenda e Buddo mu Wakiso okukyalira omwana we ono abadde asoma P.5. Baanyumizza bulungi nga basanyufu era Kato ng’ali mu nnaku yategeezezza Bukedde nti bw’ajjukira essanyu lye baabadde nalyo n’omwana we ku Ssande, alabira awo ng’amaziga gamuyitamu.

Ku ssomero yatuuseewo ku ssaawa nga 7:00 ez’emisana era n’abeererawo ddala nga banyumya n’omwana nga bwe balya n’ebyokulya taata bye yabadde aleese. Kato yavuddewo ng’obudde bw’okukyalira abayizi buweddeko ku ssaawa 11:00 ez’akawungeezi.

Taata ng’ali mu nnaku empitirivu yagambye nti: Omwana yannyaniriza nnyo, nnyo, kumbe ng’ansiibula! Yankakasizza nti agenda kwongeramu nnyo amaanyi era n’ansaba mmukakase nti nja kumuwa buli ekyetaagisa okumusobozesa okusoma obulungi, nange ne mugumya nti byonna nja kubikola kubanga njagala asome nnyo.

Nnamubuuza ky’ayagala okusomerera ng’akuze n’antegeeza nti ayagala kubeera Yinginiya. Nnamusiibudde nga ffembi tuli basanyufu nnyo era kati buli we mbeera, ekifaananyi ng’ansiibula kinzijira.ENGERI OMWANA GYE YAFUDDE Ku Lwokubiri ku ssaawa 1:30 eyaakawungeezi, Kato yafunye essimu okuva ku ssomero ng’emutegeeza nti mutabani we ali bubi.

Omukulu w’essomero yennyini Noah Mwami ye yakubidde Kato essimu okumuwa amawulire ag’entiisa. Emmotoka yagitadde ebbali n’abuukira bodaboda. Kigambibwa nti omwana we baamusitulidde okumuggya mu kisulo nga yafudde dda! Kato bwe yatuuse e Lubaga ne bamutegeeza nti omwana yafudde dda, kwe kubuuza ekituuse ku mwana we atuuke okufa mu ssaawa ntono nnyo nga baawukanye; ate nga we yabeeredde naye ku Ssande yabadde mu mbeera nnungi.

Bwe yalabye bye bamugamba tebikwatagana bulungi kwe kusalawo okwetegereza omulambo, era bwe yatunudde ku mulambo nga guzimbye mu feesi, taata n’atabuka! Olulimi nalwo lwabadde luzimbye. Kato yeecwacwanye ng’agamba nti ab’essomero balina kye batamubuulira era ng’ateebereza nti kyandiba nga waliwo eyatuusizza obulabe ku mwana obwamuviiriddeko okufa amangu gatyo.

Taata n’aba famire y’omwana obwedda babuuza abantu ab’enjawulo omuli abasomesa, abayizi mu ssomero eryo n’abakozi bababuulire ekyatuuseewo era obwedda bye boogera nga tebikwatagana.

Obwedda abamu babagamba nti omwana baakubye mukube ate abalala nga bagamba nti omwana yawanuse ku katanda mu kisulo ky’abalenzi ba P.5 n’agwa wansi, kyokka nga waliwo n’abagamba nti bayizi banne be baamusindise n’ava waggulu ku katanda n’agwa.

Awo abazadde we beesigamye okutabuka. Kato yagambye nti yeetegerezza omulambo n’alaba ekiwundu ku kalevu n’ayongera okukkiririza mu baamutegeezezza nti omwana yakubiddwa bukubwa. Noah Mwami akulira essomero yategeezezza Bukedde nti Bulega yabadde azannya n’omwana wa P.2 n’amusindika ku katanda n’agwa wansi n’afuna ekiwundu ku kalevu ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi. Mu kiseera ekyo omwana yabadde akaaba obulumi ku mutwe ne mu lubuto nti era baagezezzaako okumuwa obujjanjabi obusookerwako ne birema.

Mwami yagambye nti baasazeewo omwana okumwongerayo mu ddwaaliro erisingawo era ne basalawo okumutwala e Lubaga era ne bategeeza bazadde be, kyokka eby’embi omuyizi n’abafaako wakati mu kulwana okutaasa obulamu bwe. Olwamaze okufuna lipoota eyo, abamu ku ba famire ne batandika okubigattagatta nti ekigwo ab’essomero kye boogerako osanga kye kyakosezza ebisawo by’amawuggwe omwana n’afa!

Wabula abalala baasigadde bakyakalambira nti osanga waliwo eyabadde abonereza omuyizi, n’amukuba awabi! Waasoose kubeerawo kusaalira mugenzi ku muzikiti gw’eddwaaliro ly’e Mulago, oluvannyuma ne guziikibwa eggulo ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo e Kasanje Buwaya mu disitulikiti y’e Wakiso. Steven Sarab akulira poliisi y’e Buddo yagambye nti baatandise dda okunoonyereza ekituufu ekyasse omugenzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola...

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola ebya S.6 biranze

Capture 220x290

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130...

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130 okusasula aba LDU

Capture 220x290

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde...

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde bana

Abamukubantuabeetabyekumukologwokutongozaenkolayapulezidentieyemyoogaemasaka2 220x290

Bakalaatidde abakulembeze okuggya...

Mu nkola eno abakozi b’emirimo egifaanagana baakwekolamu ebibiina by’obwegassi n’okutereka ensimbi nga bino gavumenti...

Sseka 220x290

Abaatemyetemye ssemaka ne banyaga...

Baamutemyetemye ebiso ne bamusaba ssente zaalina kwe kuzibawa ne mukazi we ne bamuyisaamu ensambaggere olwo ne...