TOP

KCCA yandiddiza aba Owino ssente zaabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2019

KCCA yandiddiza aba Owino ssente zaabwe

Gut2 703x422

ABASUUBUZI ba St. Balikuddembe (Owino) bafunye essanyu omulamuzi bwalagidde KCCAyetereeze, kuba yeesibye omusango gw’ettaka gwe baagiwaabira okutandika.Eggulo omusango gwabadde gusuubirwa okutandika okuwulirwa kyokka bannamateeka ba KCCA tebaasengese bulungi biwandiiko nga bwe baalagirwa Omulamuzi Musa Ssekana.

Mu bimu ku biwandiiko bye yagambye munnamatteeka wa KCCA, Denis Byaruhanga mulimu ebiraga nti KCCA ssente yazitwala , abasuubuzi baazeewola mu bbanka ,ekyapa yakibawa n’ensonga endala ezitaliiko kwegaana. Yagambye nti ezo bwe bazikkiriziganyako omusango gugenda kwanguwa era bayinza okuguwoleza essaawa nga ssatu nga guwedde kubanga abasuubuzi kye baagala ssente zaabwe ekiyinza okubakeereya okufuna ekyapa.

Byonna Byaruhanga yabikkirizza n’ategeeza nti agenda kubisengeka bulungi. Obwedda omulamuzi ayogera abasuubuzi ba St. Balikuddembe abaabadde mu kkooti basekera mu kikonde. Omulamuzi yalagidde nti omusango gugenda kutandika okuwulirwa nga August 19 2019. Oluvannyuma Byaruhanga yategeezezza abasuubuzi nti KCCA eyagala bateese kubanga bonna ba wamu.

Ssentebe Kayongo Nkajja yategeezezza nti nabo okuteesa tebakugaana kyokka okusinziira ku ngeri gye balabamu KCCA eringaekozesa enkola y’okubakeereya beeyongere okufiirwa ate nga byonna ye yabireeta.

Munnamateeka w’abasuubuzi mu kkampuni yaabwe eya SSLOA Kenneth Engoru yagambye nti omusango gw’abasuubuzi gweyogerera gwokka kubanga KCCA bye yabasuubiza teyabituukiriza.

SSENTE ZIJJA ZITYA?

KCCA yakkiriza okuguza abasuubuzi akatale ka St. Balikuddembe mu nkola ya liizi . Yabalagira bagisasule ensimbi obuwumbi buna n’obukadde 200. Abasuubuzi beewola ssente mu bbanka ya DFCU ng’esoose kwebuuza ku KCCA oba yakoze n’abasuubuzi endagaano.

KCCA yakkiriza era aba bbanka ssente baaziteeka ku akawunta za KCCA. Okuva mu 2009 abasuubuzi bazze babanja ekyapa naye nga KCCA ebasuubiza okutuusa ssentebe w’olukiiko olufuga ettaka mu Kampala, Yusuf Nsibambi bwe yabategeeza nti ettaka lye basaba KCCA ligwa butereevu mu ofiisi ye era KCCA teririnaako kyapa. Baagenda ne balisaba mu butongole n’alibawa nga tebasasudde ssente. Kyokka KCCA yali yabatwalako dda ssente zaabwe.

Ssente zino ze bagamba nti ziwezezza emyaka 10 nga KCCA ezikozesa, baazisaba dda ezibaddize n’egaana kwekugikuba mu kkooti ezisasule ku mpaka nga etaddemu n’amagoba. Nga kkooti tennaba kutandika, omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju yategeezezza nti bawakanya emitendera abasuubuzi mwe baayita okufuna ekyapa era balindiridde kkooti ebasalirewo oba ssente bazizzaayo oba ekyapa kiddamu ne kiwandiikibwa mu mannya ga KCCA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

69403329063enmasterfile 220x290

Omusajja amalako weepimire ku luyimba...

OMUSAJJA amalako alina kwepimira ku luyimba lw’oku leediyo. Bw’ossaako oluyimba naawe n’otandika akaboozi, n’okooyera...

Forever 220x290

Brenda nvaako nze nfi ira ku bakazi...

OMUYIMBI Chris Evans ayanukudde omuwala manya omukazi Brenda Nafula eyabadde ku pulogulaamu y’Abanoonya ku Bukedde...

Pop1 220x290

Abakungu ba poliisi bakyusiddwa...

Abakungu ba poliisi bakyusiddwa

Got 220x290

Col. Besigye bulijjo nkunoonya...

DR. Kiiza Besigye, Omubaka Medard Lubega Sseggona n’abakungu abalala be bamu ku bantu abangi abeetabye ku mukolo...

Unity 220x290

Buli anaayingira mu Kinihiro waakufuna...

EKIVVULU kya Radio West ‘‘Gamba Mpurire’’ ekimanyiddwa ng’Ekinihiro Karasho kyeyongeddemu ebbugumu oluvannyuma...