TOP

Omukuumi eyasseomusuubuzi ayogedde

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2019

Omukuumi eyasseomusuubuzi ayogedde

Dat2 703x422

OMUKUUMI eyakubye omusuubuzi w’omu Kampala, Arnold Ainebyona Mugisha essasi eryamutiddewo ayogedde ebyabaddewo n’alumiriza omugenzi ne banne nti baasusizza ejjoogo.

Emmanuel Okirya gwe twasanze mu ddwaaliro e Mulago gyajjanjabirwa yagambye nti, Ainebyona ne baganda be, baasoose kukuba munne (Awaze) ebikonde era ye, yabadde azze kumutaasa.

Yagasseeko nti, mu kugezaako okutaasa, Ainebyona ne baganda be, baalemye okuwuliriza ne bongera okusiiwuuka empisa naye ne bamuvuma ne bamukuba n’ebikonde. “Munnange baamukoonye n’agwa wansi ne ngezaako okubayimiriza ne baagala okunkoona kwe kukwata emmundu nkube essasi mu bbanga kyokka nange simanyi ngeri ssasi gye lyawabye ne likwata Ainebyona.”Okirya bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, “baganda ba Ainebyona bwe baalabye nga munnaabwe akubiddwa, bannumbye bankoleko olutalo kwe kusuula wansi emmundu ne nziruka kwe kugwa mu bantu abankubye bwe bati. Okiria eggulo yasiibuddwa okuva e Mulago n’atwalibwa ku poliisi ya Kira Division awali fayiro CRB 530/2019.

Okirya ku Quality Supermarket e Naalya abadde yaakakolerawo emyezi musanvu gyokka.

EBYABADDE MU KUSABIRA AINEBYONA

Eggulo, omulambo gwa Ainebyona gwatwaliddwa ku kkanisa ya All Saints e Nakasero emikwano n’enganda gye beebalizza Katonda olw’obulamu bwe.

Plan Mugisha, kitaawe w’omugenzi yagambye nti, gavumenti eveeyo eyambe Bannayuganda erwanyise emmundu eziri mu bantu abatamanyi ngeri ya kuzikozesa.

Yagambye nti, batabani be buli ku makya, babadde bakeera mu giimu eri ku kizimbe ekiddiridde Quality Supermarket. Carol Kagezi muwala w’omugenzi Joan Kagezi abadde omu ku ba fanfe ba Ainebyona yagambye nti, tewali ku bbo yamanyako nti aliyogera ku Ainebyona nga mufu. Yagambye nti, abadde muntu wa ddembe nga ne bwe muba musoowaganye, alinda enkeera n’akunoonya ne yeetonda.

Nnyina yamutenderezza omutima omulungi gwabadde nagwo. Okusaba kwakulembeddwa Rev. Dr. Medad Birungibyayesu eyasabye abantu okwewala obusungu. Yagmbye nti, singa tebwabadde busungu, Ainebyona teyandifudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo