TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekubye amasasi okukwata abazze okutemula

Poliisi ekubye amasasi okukwata abazze okutemula

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2019

Poliisi ekubye amasasi okukwata abazze okutemula

Dat2 703x422

POLIISI yazingizza abatemu abaabadde bapangisiddwa okutta famire y’abantu bataano, n’ebakwata ne boogera eyabatumye okukola ettemu lino. Abatemu baabadde baweereddwa ebiragiro okusooka okutta embwa ezikuuma awaka n’oluvannyuma bakube kalifoomu abali mu nju nga bamuyisa mu ddirisa okumpi n’awali ekitanda kya nnyinimu, bwe bamala bamenye oluggi bayingire batemeeteme buli gwe basanze mu nju, emirambo gyabwe bagiyiweko petulooli bagyokye.

Poliisi yabataayizza nga batandika okukola ogwabaleese n’ekuba amasasi agaabalemesezza okudduka, bonna abasatu n’ebakwata. Bano poliisi yayazizza ebisawo bye baabadde bazze nabyo mwe yasanze akadomola ka petulooli lita ttaano, kalifoomu mu kacupa ka sooda wamu n’ejjambiya bbiri empya ze baabadde baleese okukozesa omulimu.

Poliisi yaboogezezza eyabatumye okutta Semaka wamu n’abomu makaage bonna nga omulimu baabadde baakugukolera obukadde 5 kyokka nga baabadde baweereddwaako emitwalo 20 buli omu ng’endala baabadde baakuzibawa ng’omulimu guwedde Eyasimattuse okuttibwa mu bukambwe ne Famire ye ye Kosea Makanga 83, omutuuze ku kyalo Bugembe mu muluka gw’e Lubongo mu gombolola y’e Ngogwe mu Disitulikiti y’e Buikwe.

Olukwe lw’okutta Makanga lwalukiddwa Kitintale e Kampala ng’abatemu gye baavudde nga baweereddwa byonna eby’okukozesa wamu ne pikipiki ya bodaboda Bajaj Boxer, UEW 306G. Abaakwatiddwa , kuliko; Arafat Waiswa 34, omutuuze w’e Nakawa Mbuya Zooni. Ono ye yabadde akulidde olukwe lwonna.

Yagambye nti omulimu gwe avuga mmotoka ya mukamaawe Sam nga ya kika kya Raum. Abalala ye; Amon Mugabe 38, agamba nti ye muvuzi wa bodaboda ku Siteegi y’e Kitintale era nti ye omulumi ogwamuweereddwa gwabadde gwa kuvuga banne n’okubayambako okumaliriza omulimu gwonna nga ne bwe baba baakusanga ssente mu nju baabadde bateekeddwa nazo okuzibba.

Omulala eyakwatiddwa ye Nicholas Tumusiime omutuuze w’e Kitintale agamba nti talina mulimu gwa nkalakkalira. Mu famire muno mulimu enkaayana z’ettaka era abatemu baategeezezza nti eyabaguze mukyala wabula poliisi yagaanyi okwatula amannya ge olw’obutamulabula kudduka kubanga ba munoonya. Muzeeyi Makanga yagambye nti bazzukulu be baludde nga bamuyigganya olw’ettaka era olwawulidde bino yategedde butegeezi nti be baabadde emabega waabyo.

ENGERI GYE BAAKWATIDDWAAMU

Omuntu omu eyategedde ku lukwe luno yatemezza ku ba ISO, nabo abaategeezezza poliisi y’e Lugazi. Akulira poiliisi y’e Lugazi yasindise abaserikale mu maka ga Makanga ne beekweka era abatemu okujja baabadde babalaba.

Wabula abatemu we bajjidde, nga Makanga n’abantu be bavudde mu nnyumba baliko we beekwese era abatemu olwatandise okwetala, abasekirikale ne bava mu bitooke omulundi gumu ne batandika okukuba amasasi ne babalagira okutuula wansi.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Hellen Butoto yagambye nti waliwo abantu abalala babiri abaakwatiddwa ne baggalirwa nga kuno kuliko; Andrew Maka abadde yeeyita looya w’abakwate ssaako Isa Kawagga eyagambye nti ye nnannyini pikipiki okwabadde kutambulira abatemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drstella1562588246355aspr1308w760h581e 220x290

Ogwa Dr. Stella Nyanzi okuklebeuila...

DR. STELLAH Nyanzi, emisango gye egy’okuvuma President Yoweri Kaguta Museveni ng’ayita ku mukutu gwa facebook gya...

Luck 220x290

Empuliziganya kikulu mu bufumbo...

WADDE ssente omuntu asobola okuzifunira mu Uganda, kizibu kino okukikakasa abantu abamu y’ensonga lwaki buli olukya...

Coulple 220x290

By’okola okwewala ekyeyo okusattulula...

RACHEAL 49, yaakamala emyaka 15 mu bufumbo era balina abaana basatu. Emirimu agikolera bweru wa Uganda, wabula...

69403329063enmasterfile 220x290

Omusajja amalako weepimire ku luyimba...

OMUSAJJA amalako alina kwepimira ku luyimba lw’oku leediyo. Bw’ossaako oluyimba naawe n’otandika akaboozi, n’okooyera...

Forever 220x290

Brenda nvaako nze nfi ira ku bakazi...

OMUYIMBI Chris Evans ayanukudde omuwala manya omukazi Brenda Nafula eyabadde ku pulogulaamu y’Abanoonya ku Bukedde...