TOP

Abakolera ku nguudo z’omu Kampalabajaganya

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2019

Abakolera ku nguudo z’omu Kampalabajaganya

Sab2 703x422

Wano nga bawanise emikono okuteesa.

ABATEMBEEYI n’abayiwa ebintu ku nguudo mu Kampala basanyukidde ebbago ly’etteeka KCCA lye yabakoledde ne bategeeza nti kati emirimu gyabwe Loodi meeya Erias Lukwago agitereezezza.

Bagambye nti okuggyako obuwaayiro obutono obwassiddwa mu bbago lino, okusasula layisensi bakyanirizza era KCCA kati yeebasibye. Ku Lwokubiri loodi meeya yayise abasuubuzi bano ku City Hall bamuwe ebirowoozo ku ngeri bo gye baagala etteeka eribafuga likolebwe.

Olukiiko lwabaddemu n’ababaka ba palamenti okuli Betty Nambooze Bakireke, ne Moses Kasibante. Mu balala mwabadddemu meeya wa Lubaga Joyce Nabbosa Ssebuggwawo ne Sam Gombya omumyuka wa meeya wa Kampala Central. Mu lukiiko, bakkiriziganyizza nti basasule layisinsi ya 40,000/-. ate abayiwa ebintu ku nguudo basasule 60,000/-. Ssente zino za layisensi ya mwaka mulamba.

Baawakanyizza eky’okukkiriza abasuubula ebyamaguzi ku nguudo nga bwe kyabadde kiragiddwa. Kyokka KCCA n’ekalambira nga egamba nti waliwo abasuubuzi beemanyi obulungi nti bakozesa mmotoka ne bassaamu ebyamaguzi ne bazisimba ku luguudo okutunda kalonda owenjawulo.

Kisaliddwaawo nti abo basasule 498,750/- omwaka oba 236,250/- kwabo abakolera ebbali w’ekibuga. Abalagiddwa okukolera mu yinifoomu enzirugavu bawabudde nti langi eno esika nnyo omusana waakiri babawe kiragala.

Lukwago agambye nti ebbago likyali ku mutendera gwa kwebuuza ku buli akwatibwako era agenda kuyita ne bannannyini maduuka n’ebizimbe nabo bamubuulire bye baagala mu tteeka lino.

Yagambye nti mu nkola empya ayagala abagagga batandike okuzimba nga munda mu akeedi bassaamu ebifo bamufuna mpola mwe batundira ku ssente entono.

Wabula aba KACITA baalabudde KCCA ku kyavaako olutalo wakati w’abakolera ku nguudo n’abapangisa amaduuka nti ensonga ze ezimu era bagenderere nga bayisa etteeka eryo.

Issa Ssekitto yagambye tebasobola kukkiriza tteeka lireeta bantu kukolera ku mbalaza za maduuka gaabwe era bagenda kuliwakanya. KCCA yakola dda okunoonyereza nga eraga nti bagenda kusalawo ku nguudo ezimu eziwe abasuubuzi era mu zino mulimu olwa Ssebaana Kizito, Namirembe, Allen Road ne Nakivubo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sharifah1 220x290

Sharifah Kateete waakuvuga ddigi...

Wadde ng'olutalo ku ngule ya MX125 luli wakati wa Wazir Omar ne Fortune Ssentamu, Sharifah Kateete alayidde okubalaga...

Kasozi 220x290

Owa KCCA yeesunga kukaabya URA...

Oluvannyuma lwa Allan Okello, Charles Lukwago ne Nicholas Kasozi okukomawo, Mike Mutebi mugumu nti bagenda kulabya...

Ssengalogo 220x290

Ssenga nsobola okuloga omulenzi...

Mpulira bagamba osobola okuloga omusajja n’akwagala. Ggwe olina ku ddagala ssenga.

Ssengalogo 220x290

Mukazi wange alabika yayenda n’azaala...

Nnina abakyala babiri, mukyala muto ali mu kyalo naye kati omukyala oyo alabika ayenda era yazaala omwana mulenzi....

Ssengalogo 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Nneegatta oluvannyuma ne ngenda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto naye kati mmaze emyezi...