TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab’e Kikandwa beeyiye mu lusiisira okujjanjabwa ku bwereere

Ab’e Kikandwa beeyiye mu lusiisira okujjanjabwa ku bwereere

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2019

Ab’e Kikandwa beeyiye mu lusiisira okujjanjabwa ku bwereere

Dot3 703x422

Abatuuze b’e Kikandwa - Kabimbiri mu disitulikiti y’e Mukono beeyiye ku ddwaaliro lya Kikandwa Health Centre IV mu lusiisira olwabategekeddwa aba Rotary Club Kampala South.

Bajjanjabiddwa amannyo, amaaso, puleesa, omusujja n’endwadde endala. Abamu ku bano bagamba nti, balinda lusiisira luno olubaleetebwa buli mwaka okujjanjabwa ng’obulwadde bwe bubaluma nga banywa ku kigaji, omululuuza, abamu waragi n’ebintu ebirala nga bakkakkanako nga bwe balinda abasawo okuva mu Rotary.

Constance Nakatudde, omu ku bazze okufuna obujjanjabi yagambye nti, “Amaaso gatera okunnuma bwe ngezaako okusoma amawulire ga Bukedde, naye sirina ssente za kusalula mu ddwaaliro. Kye nasalawo kulinda lusiisira luno banzijanjabe.

Stella Nakandi abadde alumwa amannyo okumala emyezi mukaaga yagambye nti, obwavu obuli e Kikandwa tebumusobozesa kugenda mu ddwaaliro ery’okusasulirwa. “Basaba emitwalo etaano oluusi n’okusingawo okukukuula erinnyo.

Ezo ssente zisobola okuliisa famire akawunga n’ebijanjaalo okumala omwezi mulamba. Bwe naaziteeka mu bulwadde eka tunaalya ki?” bwe yategeezezza. Akulira eddwaaliro lino, Dr. Ephrance Nantaayi yagambye nti balina abakozi 9 nga kw’otadde n’omukuumi. “Abasawo abasinga tebaagala kukolera mu bitundu nga Kikandwa.

Baagala we banaasomeseza abanaa baabwe nga waliwo n’ebyamasanyu nga e Mukono oba e Kampala,” Nantaayi bwe yagambye. Nantaayi yannyonnyodde nti, okusobolola okujjanjaba abalwadde abasoba mu 500 abeeyiye mu lusiisira luno, Rotary Club yaleese abasawo okuva e Mukono ne Mulago Referral Hospital.

Obulwadde obusinga okuluma abatuuze mulimu: Omusujja, olubuto, puleesa n’endwadde z’ekikaba. Obuzibu bwe yagambye obusinga bwe bw’abantu okwemanyiiza okwegulira eddagala nga tebasoose kukeberebwa kibaluma ekivuddeko okukonya endwadde mu bantu kubanga bangi tebamalaayo ddoozi, olutereeramu nga babivaako.

Oluusi eddagala lye babaguza libeera lyayitako ennaku n’entereka nga mbi ekikosa abalikozesa. Nga ku bino kw’ossa obwavu obuli mu kyalo ekibalemesa okutuuka mu malwaliro amanene.

Pulezidenti wa Rotary Club Kampala South, Ian Ssenkatuuka yagambye nti bategeka olusiisira luno buli mwaka oluvannyuma lw’okunoonyereza ne bazuula nga ebyenfuna bitono mu batuuze b’ekitundu kino.

Era twasazeewo okubatandikirawo Sacco eya bammemba nga 60. Era ne tuzimba ne ne woodi y’abaana. Bino byonna byakolebwa nga bayambibwako, Drake University mu Amerika ne bammemba ba Rotary mu Uganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Luck 220x290

Empuliziganya kikulu mu bufumbo...

WADDE ssente omuntu asobola okuzifunira mu Uganda, kizibu kino okukikakasa abantu abamu y’ensonga lwaki buli olukya...

Coulple 220x290

By’okola okwewala ekyeyo okusattulula...

RACHEAL 49, yaakamala emyaka 15 mu bufumbo era balina abaana basatu. Emirimu agikolera bweru wa Uganda, wabula...

69403329063enmasterfile 220x290

Omusajja amalako weepimire ku luyimba...

OMUSAJJA amalako alina kwepimira ku luyimba lw’oku leediyo. Bw’ossaako oluyimba naawe n’otandika akaboozi, n’okooyera...

Forever 220x290

Brenda nvaako nze nfi ira ku bakazi...

OMUYIMBI Chris Evans ayanukudde omuwala manya omukazi Brenda Nafula eyabadde ku pulogulaamu y’Abanoonya ku Bukedde...

Pop1 220x290

Abakungu ba poliisi bakyusiddwa...

Abakungu ba poliisi bakyusiddwa