TOP

Yingini ennyonjo ewangaaza emmotoka

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2019

Yingini ennyonjo ewangaaza emmotoka

Dat2 703x422

Makanika ng’afuuwa enfuufu okuva mu air cleaner y’emmotoka.

OKUKUUMA yingini y’emmotoka nga nnyonjo tekibeera kibi wabula bw’oyitiriza okugyoza kivaako ebyuma okwonooneka. Makanika Ashiraf Kasujja akulaze by’olina okukola okukuuma yingini nga nnyonjo nga n’ebyuma by’emmotoka tobyonoonye. Kasujja yagambye nti yingini y’emmotoka terina kwozebwa buli kiseera.

Agamba nti mu bbanga lya myezi mukaaga yingini erina okwozebwamu omulundi gumu gwokka. Ng’okugyoza olina okukozesa omuntu alina obukugu ng’ayoza na ngalo ze sso si ku kozesa lupiira. Okukozesa olupiira olufuuwa amazzi mu yingini kyabulabe kubanga amazzi gayingira mu byuma by’obeera toyagala gatuukeko.

Okugeza ssinga gayingira mu vaccum sensor, ssensa y’empewo, firita ne ffuuzi byonooneka emmotoka ne kifuukira ddala ekizibu. Kasujja agamba nti okwongera okukuuma yingini nga nnamu bulungi buli wiiki kyandibadde kirungi okufunayo olunaku lumu n’ogifuuwamu enfuufu.

Singa olemererwa okuggyamu enfuufu mu yingini waliwo ebyuma ebyononeka n’okuvaako okunywa amafuta amangi. Ebyonooneka mulimu; Air Cleaner, Air ferometa ebeera mu mmotoka za VVT-I, waliwo mmotoka ezitalina biwempe wansi ekivaako enfuufu okuyingira mu yingini.

Ate bw’oba ogenda okukola saaviisi olina okukebera Air Cleaner eyinza okuba ng’ekyali nnamu nga yeetaaga kufuuwamu nfuufu, ‘Air Cleaner’ bw’ebamu enfuufu esobola okuvaako emmotoka okunywa amafuta amangi.

Enfuufu esobola n’okuvaako endabirwamu okusikattira ng’ogisiba, enfuufu evaako ne leediyo y’emmotoka okwonooneka nga kiba kirungi ne ddaashiboodi ogifuuwamu enfuufu okusobola okukuuma emmotoka nga nnamu bulungi. n’okuwangaala nga tekutawaanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...