TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engonge egenda kuttunka ne Mpindi leero e Wankulukuku

Engonge egenda kuttunka ne Mpindi leero e Wankulukuku

By Moses Kigongo

Added 11th July 2019

Engonge egenda kuttunka ne Mpindi leero e Wankulukuku

Lab2 703x422

Engonge ekyaziza Empindi mu mpaka ze Bika bya Buganda e Wankulukuku olwaleero(Lwakuna) n'ekigendererwa kyokwesasuza ttiimu eno (ey'Empindi) olwokugiwandulira ku luzannya lwa ttiimu 16  mu mpaka za sozini ewedde.

Empindi yawandula Engoge ku mugatte gwa ggooli 6-2 ku luzannya lwe lumu (olwa ttiimu 16 ) ekintu Abengonge abakulembedwa Twaibu Ssemwanga (omutendesi wabwe) kye bagamba nti kyabaswaza nnyo mu maaso g'abawagizi babwe era baagala kwesasuza basobole okubawa essanyu.

Twagala kwesasuza Mpindi olw'okutuswaliza mu maaso g'abawagizi baffe nebatuuka n'okututabukira  mu kisaawe sizoni ewedde era tulina okufiirawo okufuna obuwanguzi okusobola okubawa essanyu n'okubanaazaako ennaku gye twabalabya nga tuttunka ne ttiimu eno,bwatyo Ssemwanga bwe yategeezeza nga ttiimu ye yakamala okutendekebwa ku kisaawe kya Buganda Road eggulo (Lwakusatu akawungeezi).

Mungeri y'emu Banantameggwa b'omwaka oguwedde Abenkima bawangudde Nakinsige ggoolo 1-0 eyateebedwa muyizitasubwa wabwe Robert Ssentongo.

Bano bakudingana ku kisaawe e Buwama nga 22 July 2019 Nakinsige bweneebera eddingana ne Nkima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okuganiibwa okuyimba kumukolo ogumu e Mpigi gyebuvudeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyeemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...