TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu Butto wa ovakkedo okugoba enkanyanya, situka n’okunyiriza olususu

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu Butto wa ovakkedo okugoba enkanyanya, situka n’okunyiriza olususu

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2019

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu Butto wa ovakkedo okugoba enkanyanya, situka n’okunyiriza olususu

Web1 703x422

Ekibala kya ovakkedo

ABANTU bangi balya ovakkedo era bamanyi nti alimu ekiriisa, wabula batono abasobola okunnyonnyola ebiriisa ebimulimu n’engeri entuufu gye balina okumulyamu okubifuna obulungi.

Ky’ova olaba abamwettanira bafa ku kumulya ne basuula ensigo ne batamanya nti ate basudde obugagga n’ekiriisa ekyamaanyi. Ensigo eno tugikamulamu butto alimu ebiriisa eby’enjawulo.

1 Abakyala ab’embuto abayamba okuzaala omwana nga talina buzibu, wano omukyala apima akagiiko kamu aka butto wa ovakkedo n’aliira mu nva.

2 Eyeesiba olubuto akuyambako okuba ng’ofuluma bulungi ate akola ne ku bafuluma omusaayi.

3 Akola ku bizimba mu kyenda n’abalina alusa.

 butto akamuddwa mu nsigo za ovakkedo butto akamuddwa mu nsigo za ovakkedo.

4 Omulwadde wa ssukaali, amuyamba ku kataago okukola ekirungo ekiyamba okuteeka sukaali amala mu mubiri.

5 Abalwadde ba puleesa abakolera kubanga asaabulula amasavu amabi mu mubiri.

6 Ayamba okufuna olususu olugonvu. Okwewala okukaddiwa amangu nywa ate nga bw’omwesiiga ku lususu awo n’odda buto.

7 Akola ku lususu oluvaako evvu, enviiri ezikutuka, ezirimu situka n’olususu olumera ebisukko ng’obadde osibye enviiri. Okwo gattako abalina oluyinja mu ffeesi.

8. Abaana n’abantu abakulu abafuukuuse olususu abayamba okulutereeza ssinga omunywa n’okumwesiiga.

9. Bw’oba otera okufuna ebisukko ng’omaze okusala enviiri mukozese, era ayamba.

10. Ayamba abantu abatalina mazzi mu magumba okugazzaamu ne gaba nga tegeekuuta n’okugumya enkizi.

11. Ku bakyala bannabukalu oba abasiriiza entamu nabo abayamba, okwo gattako abaagala okwoza omusaayi.

12. Akumalako enkyakya ate akala emimwa mwesiige okugigonza.

13. Abalina omusaayi ogukulukuta obutasalako ssinga ofuna ekiwundu, akuyamba okuwona ekizibu kino.

Julius Nyanzi asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi

Lip21 220x290

Agambibwa okusaasaanya obutambi...

Agambibwa okusaasaanya obutambi bw’okutta Nantaba addukidde wa Akullo

Sat15 220x290

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale...

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka