TOP

Engeri Mukwano gye yeerandiza

By Musasi wa Bukedde

Added 12th July 2019

Engeri Mukwano gye yeerandiza

Sab2 703x422

ERINNYA Amirali Karmali bw’olyogera n’otagattako Mukwano, omuntu ayinza obutakutegeera n’alowooza nti, oyogera ku musajja Omuyindi owaabulijjo so nga ono mugagga bijodolo jjajja w’ebyobusuubuzi mu Uganda afuna ssente ku buli Munnayuga ne bannagagga abasinga gwe bayigiddeko okusuubula.

Erinnya Mukwano lyawamba famire ne limenyawo erinnya ly’ekika kyabwe erya Karmali era lye lituusizza famire yaabwe ku bugagga bwe bawugiramu kati. Ensibuko yaalyo, eva ku kyalo Bukandula ekisangibwa mu ggombolola y’e Kabulassoke mu disitulikiti y’e Gomba eyali ekitundu ku disitulikiti y’e Mpigi.

Abantu b’e Bukandula baayagala nnyo kitaawe wa Karmali olw’enkolagana ennungi gye yalina nabo ne bamutuuma erya Mukwano. Baamutuuma ‘Mukwano gwa Bangi’ kubanga yalina enkolagana kumpi na buli muntu e Bukandula kyokka oluvannyuma, famire yasalawo erinnya okulisalako ne basigaza Mukwano lye baatuuma bizinensi yaabwe nga famire.

ENGERI MUKWANO GYE YATUUKA E BUKANDULA

Mu 1904, kitaawe, Ali Mohamed Karmali, yajja mu Uganda ng’ava ewaabwe mu Buyindi, yasookera Jinja gye yafuna omulimu okukola mu dduuka. Oluvannyuma yavaayo n’asenga e Mbarara mu Ankole gye yava okusenga e Bukandula ng’ekyali Mpigi disitulikiti. Eno yasiisirayo n’atandika bizinensi y’okusuubula emmwaanyi ne ppamba ng’ali ne famire z’Abayindi endala.

Omulimu guno yagukola okumala ebbanga era gye yazaalira ne mutabani we Amirali Karmali mu myaka gya 1930. Oluvannyuma, famire yasenguka n’egenda e Fort Portal. Okusenguka kuno, kwawa bizinensi amaanyi era wano we baatandikira obugagga Amirali bwe yafuna mmotoka enkadde gye yagula n’atandika okuleeta ebintu e Kampala. Yagaziya akatale n’atandika okubitwala e Mbarara ne mu bitundu by’obuvanjuba bwa Zaire (kati DR Congo).

Wakati wa 1968 ne 1970, famire yava e Fort Portal n’esenga e Kampala Amirali mwe yakola edduuka lye eryasooka lye yatuuma Egesa Commercial Agencies. Mu 1972 eyali Pulezidenti wa Uganda Idi Amin Dada bwe yasalawo okugoba Abayindi abasoba mu 80,000 ebintu byabwe n’abigabira Bannayuganda, Amirali teyadda Buyindi.

Yakwekebwa abazirakisa okumala emyaka egiwera okutuusa mu myaka gya 1980 lwe yaddamu okwezimba bupya n’atandika bizinensi endala Mukwano Enterprises Ltd oluvannyuma eyafuulibwa Mukwano Industries (U) Ltd.

FAMIRE YA MUKWANO Amirali Karmali y’abadde ssentebe w’olukiiko oluddukanya kkampuni za Mukwano oluvannyuma lw’okweggyako obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya kkampuni mu 1995 n’abukwasa mutabani we Alykhan Karmali.

Yazaala abaana babiri Alykhan Karmali ne Rukshana Karmali. Rajini Taylor akulira ekibiina ekigatta Abayindi mu Uganda yagambye nti, abaana bombi, baali babeera Canada kitaabwe n’abayita bakomewo mu Uganda okuddukanya emmaali ye. Yagambye nti, abaana bombi, balina ebintu bya kitaabwe bye baddukanya era bakoze kinene ku nkulakulana eriwo mu bizinensi ye erabwako essaawa eno.

W’afiiridde, abadde yaddayo e Fort Portal gy’alina amaka abiri mwe yateeka bakyala be. Agamu galimu mukyala we Omuyindi ate amalala galimu omukyala Mutooro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...