TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti agenda kuwa ab’e Busoga ssente okukola emirimu

Pulezidenti agenda kuwa ab’e Busoga ssente okukola emirimu

By Musasi wa Bukedde

Added 12th July 2019

Pulezidenti agenda kuwa ab’e Busoga ssente okukola emirimu

Dab2 703x422

Abakyala nga bambazza Pulezidenti Museveni ekyambalo ekimuwagira okwesimbawo yekka mu 2021. Owookubiri ku ddyo ye Sipiika Kadaga.

PULEZIDENTI Yoweri Museveni akunze Abasoga ne Bannayuganda okutwaliza awamu beenyigire nnyo mu by’obulimi kubanga ly’ekkubo mwe bajja okuyita okufuna ssente beggye mu bwavu.

Pulezidenti eyasoose okulambula Busoga, bino yabyogeredde mu maka g’obwapulezidenti e Jinja ku Lwokusatu. Museveni yagambye nti agenda kutandika okugaba ssente ez’emirimu egyenjawulo mu Busoga nga bwe yakola mu Kampala era n’asaba abantu okutandika okwekolamu SACCO nga ez’abasibi b’enviiri, bamakanika, ababazzi, abaweesi n’abalala nga muno mwagenda okussa ssente ezinabasobozesa okwegulira ebyuma ebyokukozesa.

Pulezidenti yasoose kusisinkanamu n’abakulembezze ab’enjawulo okuva mu Busoga okwabadde ababaka ba Palamenti, bassentebe ba LC 5, bassentebe ba LC 3, bakansala wamu n’abali ku bukiiko bwa NRM obw’enjawulo era nga lwabadde ku kisaawe kya Hared Health Fitness e Jinja.

Bwe yabadde ayogera eri bannamawulire, Museveni yasabye Bannayuganda beenyigire mu pulojekiti musanvu okuli okulima emmwaanyi, ebibala, emmere ey’okulya, omuddo ogw’okuliisa ente, okulunda enkoko, embizzi, n’ebyennyanja. Museveni yategeezezza nti eno ye kampeyini kati gy’aliko nga afalaasira abakulembeze abenjawulo okukubiriza abantu okwenyigira mu pulojekiti ezo mu ggwanga lyonna.

Yagambye nti amaka 68 ku buli 100 galima mmere ya kulya n’asaba abantu okutandika okulima emmere y’okutundako n’okukozesa ekibalo nga balima. Yagambye nti abantu abalina yiika omukaaga okukka wansi tebasaanye kwenyigira mu kulima bikajjo era nti ebikajjo bisaana kulimwa abantu abalina yiika mukaaga n’omusobyo.

Alina yiika ennya ayinza okulima emmwanyi ku yiika emu ne zimuwa wakati w’obukadde 8 ku 9 era ono asingako alimye yiika emu ey’ebikajjo. “Omuntu bw’alima yiika emu ey’ebikajjo, kijja kumutwalira emyezi 18 okukungula ate afunemu obukadde nga bubiri bwokka ng’oggyeeko ssente z’asaasaanyizza mu ku birima wabula alimye emmwaanyi ku yiika emu ate asingira wala alimye ebikajjo kuba ye afunamu nnyo mu yiika emu,” bwe yannyonnyodde.

Pulezidenti bwe yabuuziddwa oba gavumenti erina kyeyinza okukolera bbeeyi y’ebikajjo egwa buli lunaku, yagambye nti tewali kinene kya nnyo kye bayinza kukola n’alabula nti ebikajjo bikyagwa ebbeeyi.

Museveni yalabudde abakulembezze abagoba abantu mu ntobazzi nga bakozesa eryanyi n’ayongerako nti abantu babogereze mpolampola okuva mu ntobazzi okutuusa bwe banaazivaamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...