TOP

Omuyizi bamutemyeko omutwe

By Musasi wa Bukedde

Added 12th July 2019

Omuyizi bamutemyeko omutwe

Wet2 703x422

Caroline Akoth omuduumizi wa poliisi (ku kkono) e Rwiizi ne ttiimu ya Poliisi nga beekebejja we battidde Tumwehe.

ABATUUZE ku byalo eby’enjawulo ebisangibwa mu Ggombolola y’e Mwiizi mu disitulikiti y’e Rwampara, bali mu bunkenke olw’ekittabantu ekikyase ensangi zino. Kino kiddiridde abazigu okutemako omuyizi omutwe ne balembeka omusaayi ne bakuliita nagwo.

Mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu ku kyalo Kyatoko, abazigu baagwiikirizza Benard Tumwehe ow’emyaka 17 ng’ava ku dduuka ne bamutemako omutwe ne balembeka omusaayi ne bakuuliita nagwo.

Munne Geofrey Nduhura ye yakubye enduulu eyasombodde abatuuze naye ebyembi baagenze okutuuka ng’abatemu badduse. Ettemu lino we libeereddewo, abakulembeze mu kitundu, bategeezezza poliisi nga abazigu bwe baakatta abantu basatu mu ngeri y’emu nga babatemako emitwe nga eyasoka yali mutuuze we Ryamiyonga, omulala yali w’e Kyonyo nga ono baasooka kumukuba nnyondo ku mutwe oluvannyuma ne bamutemako omutwe ne bamulembekamu n’omusaayi.

Godfrey Sande, ssentebe w’e Ggombolola ya Mwiizi ategeezezza nti, mu kiseera kino abantu bali ku bunkenke olw’ebikolwa by’ettemu ebisusse era n’ategeeza aduumira poliisi mu kitundu kino, Caroline Akoth ng’abazigu bwe baasooka okubasuulira ebibaluwa bikirokitwala omunaku nga babalabula nga bwe beetaaga ebidomola bisatu eby’omusaayi gw’abantu n’emitwe wadde ng’abatuuze abalala baategeezezza nti ebibaluwa ebirala, bibalabula nti baagala ebidomola munaana eby’omusaayi gw’abantu.

Abatuuze era balaajanidde abeebyokwelinda okubaako kye bakola okumalawo ettemu erikudde ejjembe mu kitundu kyabwe kuba beeraliikirivu ku lw’abaana baabwe abakeera amatumbibudde okugenda ku masomero.

Baasabye Gavumenti okulagira abakulira amasomero okukkiriza abayizi okugenda ku masomero ng’obudde bukedde kubanga batya nti abazigu bayinza okubazinduukiliza ne babatuusaako obulabe.

Ettemu lino lisitudde n’omuduumizi wa poliisi ya Rwiizi, Caroline Akoth, eyasaasidde abooluganda lw’omugenzi n’asaba abatuuze okubeera abakkakkamu n’okukolaganira wamu ne poliisi mu kunoonyereza ku kitta bantu mu kitundu kyabwe.

Abatuuze basabye poliisi okwongera obukuumi mu kitundu era ne bategeeza nti, abatemula bannaabwe, bandiba nga basaawo abassadaaka abantu kubanga buli lwe batema omuntu kye basooka okukola kya kulembeka musaayi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...