TOP

Maama wa Pookino aziikibwa leero

By Musasi wa Bukedde

Added 12th July 2019

Maama wa Pookino aziikibwa leero

Lop2 703x422

MAAMA wa Pookino, Vincent Ssebbowa Mayiga afiiridde ku myaka 91. Alese omukululo naddala ku kyalo Kisunku gy’abadde abeera mu maka ga bba, omugenzi Dominic Ssebbowa eyali omutaka ku kyalo kino.

Redemptor Ssebbowa 91, era ye maama w’omumyuka w’omukuhhaanya w’olupapula lwa Bukedde, Michael Mukasa Ssebbowa era aweereza Pulogulaamu y’Ensi Kuyiiya ku Bukedde Fa ma Embuutikizi.

Omugenzi yafiiridde mu ddwaaliro lya Holy Family Hospital e Kaliisizo gy’abadde amaze akaseera ng’atawaanyizibwa obulwadde bwa puleesa.

Alese abaana munaana, n’abazzukulu okuli n’aboomutendera ogwokuna. Pookino Mayiga yagambye nti nnyaabwe abadde muntu waabantu era ensulo y’okumanya naddala ebyedda ng’abadde abinyumya abikuba budinda, munnaddiini ate eyabakolerera ennyo ne basobola okusoma ye ne baganda be bonna era ne bafuuka aboomugaso mu ggwanga.

Michael Ssebbowa yagambye nti nnyaabwe yabaagazisa nnyo eddiini ey’Obukatoliki mw’afiiridde era nabo ng’abaana yabalambika nnyo mu ddiini. Yasiimye Katonda ebbanga ly’akuumye nnyaabwe. Omugenzi aziikibwa leero (Lwakutaano) ku ssaawa 8:00 e Kisunku.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte