TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayimbi abagudde mu laavu ne bamaneja baabwe ekitone kyabwe ne kisaanawo

Abayimbi abagudde mu laavu ne bamaneja baabwe ekitone kyabwe ne kisaanawo

By Musasi wa Bukedde

Added 12th July 2019

Abayimbi abagudde mu laavu ne bamaneja baabwe ekitone kyabwe ne kisaanawo

Rog1 703x422

Spice Diana ne maneja we Roger.

OMUKWANO gulinga muzannyo. Gukuwa essanyu oba okukusuula mu ntata n’oluusi okukuggya ku mulamwa. Okufaananako n’emirimu emirala, ba bboosi n’abakozi gye baganza bannaabwe nga n’abamu bafumbo ne batuuka n’okubalemesa obufumbo, ne mu nsiike y’okuyimba bamaneja bangi abazze beefunza abayimbi n’abamu ne babasuumusa ne bafuukira ddala bakyala baabwe.

Olw’okuba abasinga bajjira mu kiti ky’okuyamba abayimbi bano n’okubateekamu ssente bakulaakulanye ebitone byabwe, embeera eno waliwo abagifunyeemu ate abalala bakaaba olw’okubakwabula.

Mu kiseera kye kimu embeera eno ereetedde abayimbi abamu naddala abato okulemwa okukulaakulanya ebitone byabwe ate abali mu bufumbo ne bufa ne beevuma ebidongo. Mu bano muzingiramu abayimbi abanene mu bibiina, abawandiisi b’ennyimba, bannannyini situdiyo ezikwata ennyimba n’abagagga ababateekamu ssente.

alt=''

Olw’obudde obungi abayimbi bano ne bamaneja bwe bamala bonna nga bakola emirimu, batuuka ku ssa ly’okwemanya endya n’ensula okukkakkana nga beeriddewo. Abamu babatega obumasu, okubapokera omusimbi, okusula mu kisenge ekimu nga bagenze ku bivvulu nga bawoza nti bakekkereza ssente, okubagabira obulabo n’ebirala.

Abalala beeyambisa embeera y’obwavu, obutamanya n’okwagala eby’amangu okukkakkana ng’omukwano gubazibye amaaso.

OMUKWANO LWE GUBAZIBA AMAASO

Omukwano bwe guyingirawo gukyusa abantu ne bava ku biruubirirwa byabwe. Eyali alowooza myuziki n’okumuwa obudde yeesanga obudde atandise kubumalira ku musajja gw’afunye n’ebivaamu tebiba birungi naddala nga baawukanye, anti buli omu atandika okulaba obubi munne olw’okumulemesa omulimu. Abamu enkolagaana ebadde eya bizinensi baggyamu bufumbo ne bazaala n’abaana. Wakati mu laavu wabeerawo ebbuba ne weesanga nga maneja aliko abantu batayagala basemberere muyimbi we ne kimufiiriza emikisa ne ssente.

Olwa laavu ebeera eyingiddewo, buli omu atandika okulondoola n’okutambulira ku munne oluusi n’okumugaana okugenda okuyimba mu bifo ebimu gye bamuwadde bizinesi. Waliwo abatuuka n’okugaana abayimbi okubaako ebintu bye bakola ng’okuzina n’abawagizi ku siteegi ne beerabira nti omulimu gwabwe kusanyusa bantu.

Okwewala bino bamaneja abamu basalawo okugaana abayimbi okuyimba basobole okubafunza obulungi olwo eyalina ekiruubirirwa ky’okufuuka omuyimbi ow’akabi nadda waka kufumba.

 ABAYIMBI ABAKOSEDDWA SASHA BRIGHTON

Olunaku lwe yategeeza abawagizi be nti afunye Herbert Shonga okumuteekamu ssente bangi baakisanyukira nga bagamba nti ono ayinza okumuyambako okulinnya eddaala okuva we yali mu Da Nu Eagles, kyokka okusinziira ku ngeri ebintu gye bitambulamu oyinza okulowooza anaatera okuva ku mulamwa anti ebiseera ebisinga obalaba ku mikutu gya social media nga bali mu mukwano beekola obusolosolo.

FILLE MUTONI Ono yali mu kiti kye kimu ne Rema Namakula wamu ne Irene Ntale kyokka bano baamuyitako. Ebimu ku bizze bimukosa n’okutambula akasoobo bwe bukuubagano, ebubba, okuyombera mu bivvulu n’entalo zazze abeeramu ne bba era maneja we MC Kats. Ng’oggyeeko okumuyamba okutumbula myuziki we, embeera ya Kats okulondoola n’okutambulira ku Fille abamu bagirabanga okumulemesa okwetunda n’okumumalako emirembe.

Omwaka oguwedde Kats yatabukira mu Club Amnesia n’alagira Dj okusirisa ebyuma atwale omuyimbi we olw’abavubuka abaali bamukutte omunyigo.

SERENA BATA NE BROWN SUGA

Bombi bayimbi balungi era balina ebitone kyokka oyinza okugamba nti tebakyalina mukisa kutuuki-riza birooto byabwe eby’okufuuka abayimbi ab’akabi. Ewa Sipapa gye baagenda okufuna obuyambi n’okubatumbula baafunayo bufumbo era kati abakolera myuziki okusinziira ye bw’ayagala so ssi bbo nga bwe baagala.

LEILA KAYONDO Bwe yafuna omugagga SK Mbuga nga maneja we yalaba ng’ekirooto kye eky’okufuuka omuyimbi ow’amaanyi kituukiridde kyokka ono teyakimanya nti okuyingizaamu laavu kyali kigenda kumwonoonera buli kimu.

Mbuga yamuteekamu ssente n’okusasula abayimbi abanene nga Jose Chameleone n’ab’ebweru okukola naye ennyimba kyokka bwe baayawukana buli kimu we kyakoma era kati Kayondo yaddayo ku ddaala ly’abayimbi abeeyiiya.

LYDIA JAZMINE

Muyimbi mulungi kyokka ebimu ku bimusoomooza ze njawukana n’abantu bazze afuna okumuyambako okutumbula myuziki we era gye biggweera nga babiyingizzaamu laavu.

Pulodyusa Bushington yamuteeka ku maapu n’okumutwala mu mpaka za Coke Studio wabula baayawukana bubi era kigambibwa nsonga za mukwano. Ne Robert Kampala abadde amuteekamu ssente okukola vidiyo ez’akabi nga tava na ku nnyonyi naye gye buvuddeko baatabuka bubi. Yaliko ne Dubai n’omuvubuka omu eyali amusuubizza okumuteekamu ssente.

HELLEN LUKOMA

Atobye n’omuziki okuviira ddala mu kibiina kya HB nga bali ne Brenda Nambi. Oluvannyuma lw’ebbanga ng’ayimba bw’omu era nga tebimmuka, yafuna Andrew Kaka nga maneja we okumuteekamu ssente mwe baggya laavu era kati amaanyi bagamalidde mu kutereeza laavu yaabwe okusinga myuziki. Baayanjula n’okukola embaga kati yamuzaalidde ne bebbi.

STECIA MAYANJA Abadde w’amaanyi nnyo bwe yali mu Eagles Productions ne Golden Band kyokka okuva lwe yasala ne yeegatta ku Kream Productions amaanyi n’obuwagizi byakendeera. Okuva mu Golden kigambibwa yasikirizibwa Bashir Bogere kati omwami we era ono yamukwanira mu Golden gye yali akola nga maneja.

 Hellen Lukoma ne bba Kaka eyasooka okub maneja we.

DR. PROPA Okuyimba akumanyi kyokka ebbanga lyonna yali alemesebwa olw’okubulwa omuntu amuteekamu ssente. Bwe yafuna Patricia Zytek nga maneja n’ategeeza nti kati kiwedde mulindirire kye bayita myuziki wabula kino si bwe kyali oluvannyuma lw’enkolagana yaabwe okuvaamu laavu.

Wadde yali amuwa buli kye yeetaaga, Patricia yamuteekako embeera emulemesa okukola n’abamu ku bantu abaali basuubirwa okumugattako ng’amulondoola ekigenze ewala ssaako okumugaana okuyimba mu bifo ebimu n’abantu abamu be yaali yeekengera.

RENAH NALUMANSI Mu kufuna Justine Bas ekirooto kye kyali kya kumuyamba kumutunda n’okutumbula myuziki we naye okuva lwe baayingizaamu ebya laavu, omulamwa gw’afa.

 

LIANE NAKAWEESI

Bwe yafuna Benon Kasenene okumuteekamu ssente bangi baakisanyukira nga bagamba nti kafunye oyo akimaze kyokka gye byaggweera nga Liane agudde nakati tawulikika.

Entabwe yava ku kuva ku mulamwa ne babiyingizamu laavu.

ABAFUNYEMU Spice Diana Okuva lwe yafuna Roger Lubega nga maneja, buli lukya ayongera kulinnya. Kigambibwa n’enkolagana yaabwe esukka ku bwa maneja kyokka kino tebakiraga mu bantu era bwe batuuka ku by’omulimu buli omu akola buvunaanyizibwa bwe, wabula Roger takkiriza bantu kumusembera.

Embeera y’emu y’eri ne ku Sheebah Karungi ayogerwako okuba n’enkolagana ey’enjawulo ne maneja we Jeff Kiwa amutumbudde mu by’omuziki n’okumuyambako okuzimba ennyumba.

CATHERINE KUSASIRA Sseruga yamukwana yaakeegatta ku Eagles Production. Yatandikirawo okumuyamba okumuwandiikira ennyimba n’okutumbula ekitone kye. Ono okwawula laavu n’omulimu kimuyambye okwekuumira ku maapu ebbanga eddene.

Sseruga ne bw’abeera ku kivvulu, Kusasira tekimugaana kusanyusa bawagizi be mu mbeera yonna. Oyinza okugamba laavu yaabwe yafuuka katemba bagikolamu ssente.

ENGERI GYE WEEWALA OMUKWANO OKUKUZIBA AMAASO

lYiga okwetengerera naddala ku nsonga ezikwata ku bulamu bwo. Obuzibu abantu abamu bwe bafuna kwe kulowooza nti buli kimu kirina kutambulira ku mwagalwa we.

lKirungi ne bw’oba mu mukwano ebiseera ebimu osigale nga weerowoozaako nga ggwe, ng’ebya laavu obitadde ku bbali. Mu ngeri eyo ojja kwesanga ng’osobodde okukola ebikugasa.

lYiga okweyagala ggwe kennyini. Kino bw’okikola ojja kwesanga ng’ofaayo okukola ebikusanyusa. Mu ngeri eno, kijja kuba kizibu omukwano gw’olina eri omuntu omulala okukuziba amaaso. lManya nti omukwano omujjuvu olina okugussaamu amagezi.

Bw’ogwa mu mukwano n’omuntu omutuufu ajja kukuzzaamu amaanyi, ajja kukubuulirira ebituufu, ajja kufuba okulaba ng’osigala ku mulamwa, ajja kufaayo ku nkulaakulana yo ng’omuntu wamu n’omukwano gwammwe era ajja kufuba okulaba ng’okulaakulanya ekitone kyo. Noolwekyo omuntu akwagala nga tafaayo ku nkulaakulana yo mwesonyiwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo