TOP

Nantongo afunye omusajja amuwuuba

By Musasi wa Bukedde

Added 12th July 2019

Nantongo afunye omusajja amuwuuba

Tip2 703x422

‘‘BALI baveeko bannage nzekka, totya bambi ojja kuba bulungi, gwo omukwano nagukuguka gwonna buli kadde nja kuba nkusanyusa lwakuba olwawo okulabika, oli wa bbula nnyo malayika naye nze.....mwana gwe ompuuba, ompuubye ofuuse kawuuba......’’ n’ebirala bye bimu ku bigambo ebiri mu luyimba lwa Carol Nantongo olupya ‘‘Ompuuba’’ lwe yafulumizza.

Oluyimba luno lwa mukwano nga lutandika n’ekidongo ekitaleka muntu mu ntebe olw’obuwoomi obukirimu.

Olumala n’asumulula ebigambo ebiwooma nga biwaana omusajja gwe yafunye ng’agamba nti amuwuubye mu by’omukwano n’amatira era essanyu lyonna ly’alina ggaayi ono yalimuwadde.

Alina waasabira muninkini we ono...aleete laavu yonna gy’alina kubanga amulinze. Agamba nti abasajja abamukwana abatambuza n’okubaguumaaza nga bw’abategeeza nga bw’alina omusajja abasinga mu kano akazannyo ka laavu lwakuba alwawo okulabika.

Okumanya mwanamuwala ono awaanye omusajja, atuuse n’okumuyita ‘omusota ogubojja ‘n’alayira nti okumufiirwa waakiri ayonoona bwatyo n’alabula abawala b’ekibuga okumwesonyiwa’.

Oluyimba luno alugasse ku nnyimba endala zazze akuba okuli: Tukiggale, Kamese Tambula, Ontuuka, Misumaali, Nakusiima, Ndagirira ne Sirwana lwe yakuba ne Sheebah Karungi olubawanise ku ntikko.

Maneja Judas yategeezezza nti oluyimba luno baalukoledde mu situdiyo ya Sabula nga Pulodyusa Baur ye yalukuttemu. Lwawandiikiddwa Judas ne Nickoly ate aba Virtial Media ne bakola vidiyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...