TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Yeeyise omusawo n’akuba abayizi b’amasomero empiso enfu

Yeeyise omusawo n’akuba abayizi b’amasomero empiso enfu

By Musasi wa Bukedde

Added 13th July 2019

OMUKAZI Hanifah Nakaayi eyeeta Hannah Bitamazire yeefudde omusawo okuva mu minisitule y’ebyobulamu n’atalaaga amasomero mu Divizoni y’e Bweyogerere, nng’agenda akuba abayizi empiso nti abagema obulwadde bw’ekibumba ‘Hepatitis B’ ne kookolo w’omumwa gwa nnabaana mu bawala.

Lumba 703x422

Nakaayi eyeeyita Bitamazire.

Poliisi y’e Bweyogerere egenze okumukwata ng’atambudde amasomero okuli; Faith Junior School e Bweyogerere, Zion P/s, Noah’s Ark P/s, Tabiah P/s, Prosper P/s, Multipurpose P/s ne Bweyogerere High School.

Abadde n’ebbaluwa ze yajingiridde nga ziraga ava mu minisitule y’ebyobulamu nga ziragira buli muyizi gw’agema alina okusasula ssente 1,000/- okumuyambako okukola obulungi omulimu guno.

Takomye kugema bayizi bokka wabula n’abamu ku basomesa abatwaliddemu.

Poliisi yamusanze ng’alina ne sitampu y’eddwaaliro lya Kira Health Centre IV, bookisi y’empiso, n’obucupa obulimu ebiragala bye yagambye nti, yabigula mu maduuka agatunda eddagala.

Bino byonna byatwaliddwa mu kkeberero lya Gavumenti e Wandegeya bikeberebwe.

Isaac Ssenkubuge ssentebe wa Divizoni y’e Bweyogerere yagambye nti Ono okukwatibwa kiddiridde Paster Musoke Kaweke owa Zion P/s e Bweyogerere okutwala okwemulugunya mu ofiisi ye nga yeekengedde Nakayi ne bakwatagana ne poliisi ne bamukwatira ku Bweyogerere High School.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...