TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwana alina ebitundu by’ekyama ebibiri atabudde abasawo

Omwana alina ebitundu by’ekyama ebibiri atabudde abasawo

By Musasi wa Bukedde

Added 14th July 2019

FIONA Nalubega 21, omutuuze w’e Mutukula - Kinyankole e Kyotera asobeddwa oluvannyuma lw’okuzaala omwana alina ebitundu byekyama bya mirundi ebiri ate ne bba n’amuddukako.

Mazzi 703x422

Nalubega n’omwana we ng’ali ne Dr. Mirembe.

Omwana ono awezezza emyezi munaana nga yamuzaalira mu ddwaaliro e Kalisizo, kyokka obutonde bw’omwana ono obutuufu bukyatabudde abasawo nga buli ddwaaliro gy’amutwala ebivaamu bibeera bya njawulo.

Sikaani eraga nti, obutonde bw’alina bwa musajja, kyokka bwe bamukebera omusaayi okwekebejja endangabutonde yeeraga nti obutonde bwa mukyala.

Kino kikyatabudde nnyina asiiba mu maziga olw’okusoberwa ky’alina okukola okulaba ng’omwana we ataasibwa n’asigazaako ekitundu kya kika kimu.

Nalubega mu kiseera kino abeera ne kizibwe we e Kasangati gy’aviira okugenda mu ddwaaliro e Mulago.

NZAALA OMWANA

Omwana namuzaala nga October 29, 2018 mu ddwaaliro ly’e Kalisizo Health Centre ku ssaawa nga 3.00 ez’oku makya.

Omusawo yanzaalisa bulungi era n’andaga omwana wange nga ndaba muwala era namalayo olunaku lumu ne bansiibula.

Obuzibu buno mukulu wange yabulaba amunaaza nga bamaze okutusiibula. Twaddayo mu ddwaaliro nga twatuukira ku musawo ey’anzaalisa eyamutwala mu basawo banne ne bamwekebejja.

Bampa amagezi okudda eka mmuze mu ddwaaliro oluvannyuma lw’emyezi esatu nga akuzeemu.

Bansindika mu ddwaaliro lya Mulago - Masaka abaamukebera nga balaba mulenzi nabo ne bannyongerayo ku ddwaaliro lya Kitovu.

Eno baddamu okumukuba ebifaananyi mu sikaani eyalaga nti omwana muwala.

Wabula nga basobeddwa, bansindika mu ddwaaliro ekkulu e Mulago - Kampala.

E Mulago baddamu okumwekebejja kyokka ebyavaamu nga tebikwatagana, sikaani ng’eraga mwana mulenzi kyokka ebyava mu musaayi nga biraga nti muwala.

Bampandiikira eddagala ly’okugula ndimuwe oluvannyuma mmuzeeyo kyokka kati emyezi giweze esatu sirifunanga kubanga lya bbeeyi nga buli mpeke bagitunda 100,000/- ng’ate alina kusooka kumira empeke ssatu ze 300,000/- ze sirina. Abasawo bantegeeza nti, kino

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nrm1 220x290

Okulonda kwa ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa ssentebe wa NRM e Mityana kutandikidde mu ggiya

Kalendeweds1 220x290

Obunkenke e Namirembe nga Reverand...

Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikko baasirikiridde buli omu nga bwatunuulira munne okutuusa Rev....

Saba 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Nakalembe1 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Sebulime1 220x290

Famire ya Ssebulime ekukkuluma...

FAMIRE y’omugenzi Ronald Ssebulime eyakubwa poliisi amasasi ng’ateeberezebwa okuba mu lukwe lw’okwagala okutta...