TOP

Abakazi banyize Bugingo

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2019

Abakazi banyize Bugingo

Deb2 703x422

Teddy Naluswa ne Bugingo

Teddy Naluswa asitukiddemu ku bya Paasita Bugingo okumwanika ku kadaala nga bwe yalwala ekikulukuto. Addukidde mu kkooti n’agisaba eggalire Bugingo olw’okumuvvoola buli lw’ayagadde.

Abakazi abamaanyi ensonga bazipaazizza bagamba nti Bugingo teyavvodde Teddy yekka wabula abakazi bonna okuli ne nnyina (maama wa Bugingo). Bakoze ekiwandiiko kye batwala eri akakiiko akakola ku ttivvi ne leediyo kabonereze Bugingo okusinziira ku leediyo ye ne ttivvi n’ayogera ebyesittaza.

Tebakomye awo, ensonga bazitwala mu palamenti. Abalala baguze katoni za ppamba baziddize Bugingo nga bagamba nti alabika ppamba gwe yagulira Teddy okumala emyaka 10 yamuluma nnyo.

Mu kulumba Bugingo okulabika nga kwe kukyasinze okuva mu buli nsonda okuli n’emikutu gya yintaneti, Bugingo yavuddeyo ku Lwomukaaga ne yeetonda. Yazzeemu okwetonda mu kusaba eggulo n’atangaaza nti yabadde talengezza Teddy wabula okulaga embeera gye baayitamu enzibu nga Teddy alwadde ekikulukuto okumala emyaka 10.

Kyokka be yeetondedde baabadde tebannamusonyiwa ate n’alumba abaguze ppamba okumumutwalira. Abo yabayise batumbaavu.

Wabula abakazi nabo balemeddeko okugenda mu maaso n’okwekalakaasa gattako okutwala ekiwandiiko mu palamenti n’akakiiko akavunaanyizibwa ku biweerezebwa ku ttivvi ne leediyo.

Bino biddiridde Bugingo okusinziira mu kkanisa ye e Makerere ku Lwokusatu n’ajolonga mukazi we Teddy nti yalwala ekikulukuto. Bugingo yamala emyaka 10 nga buli lunaku agula ppamba kubanga paadi zaali tezikyagasa. “Teddy yeewaana atya bw’agumiikirizza emyaka 29, kyokka nga mu mu myaka egyo tebeegatta mu kaboozi mirundi giwera 100?” bwe yeebuuzizza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.