TOP

Akulira eggwanika mu KCCA asuddewo omulimu

By Hannington Nkalubo

Added 15th July 2019

Akulira eggwanika mu KCCA asuddewo omulimu

Ray2 703x422

Julius Raymond Kabugo

OBUNKENKE mu KCCA bweyongedde akulira eggwanika Julius Kabugo bw’asuddewo omulimu nga waakayita ennaku mbale nga Loodi meeya Erias Lukwago abakambuwalidde ku nkozesa ya ssente.

Kabugo yataddemu empapula nti akoma okukola nga August 10, omwaka guno. Yasazeewo agende akole ebibye. Kabugo abadde mukono gwa kyuma ku mulembe gwa Jennifer Musisi eyagenda nga December 14, 2018. Kabugo yagambye nti yasazeewo nga takakiddwa okuva mu KCCA era tagenze mu mutima mubi. Banne bangi bwe babadde bakola nga ttiimu ku mulembe gwa Jennifer Musisi Ssemakula bagenze.

Akola nga dayirekita wa Kampala, Yinginiya Andrew Kitaka yategeezezza nti Kabugo akoledde emyaka munaana ng’akola bulungi era amwebaza okukolera ekitongole n’eggwanga n’omutima gwe gwonna nga teyeebalira. “Okuva ku mulimu nga tokakiddwa kya bulijjo era bangi bagenze mu mbeera eno ne bagenda ku mirimu emirala,” Kitaka bwe yagambye.

Yategeezezza nti omumyuka we Samuel Sserunkuuma ye akyakola era ababitambuza nti naye yagenze bakyamu. Julius Kabugo y’abadde akwatiridde ekitongole byenjingiriza n’enfulumya. Y’abadde asomesa abamu ku bakansala okumanya engeri ebyenfuna y’ekitongole bw’eyimiridde era nga y’abadde akulira ttiimu ekola embalirira y’ekitongole.

Yakola kinene ku bwassentebe bwa ttiimu y’omupiira eya KCCA FC n’esobola okuwangula ebikopo n’okulinnyisa omusaala ssaako okuzimba ekisaawe ky’e Lugogo ekiyitibwa Star Times Stadium.

Okulekulira, agoberedde abadde akulira ebyamateeka mu kitongole Charles Ouma eyagenze gye buvudde. Kati baweze abanene 10 abali ku madaala aga waggulu nga bakiika butereevu ewa Dayirekita Jennifer Musisi Ssemakula.

ABAGENZE Abasuddewo emirimu kuliko: eyali omumyuka wa dayirekita wa Kampala, Judith Tukahirwa, eyali akulira abakozi mu KCCA, Jennifer Kaggwa, eyali akulira eggwanika Pheibe Kamya, eyali akulira ekitongole ekiwabula ku mateeka Micheal Okua, eyali akulira ebyenjigiriza Annie Galiwango, eyali akulira ebyensimbi Daniel Kyambadde, eyali amyuka akulira ebyenjigiriza Ambrose Atwooki, munnamateeka Charles Ouma. Julius Kabugo ne mukama waabwe Jennifer Musisi.

Abagenze bazze bawa ensonga ez’enjawulo okuli entalo ezisusse ku kitongole. Abalala beerwanyisa bokka. Jennifer Musisi yawa ensonga nti wadde yakola nnyo, teyafuna kuwagirwa kutuufu abamu ku bakungu mu Gavumenti ate nga bye yakola byali bya ttendo. LIPOOTI Omwezi oguwedde, Loodi Meeya Lukwago yaweebwa lipooti ku misango KCCA gy’ezze esaasaanyaako ssente.

Akola ng’akulira ekitongole ky’amateeka Caleb Mugisha ye yagimwanjulira ng’erimu ensimbi obuwumbi 43 ezigambibwa nti zaakozesebwa mu kuliyirira emisango Bannakampala gye baagiwawaabira mu kkooti.

Lukwago yatabuka n’awakanya lipooti eyamuweebwa nti bw’ogisoma n’ogatta ssente, zisoba mu buwumbi 50. Ng’ayita mu lukiiko olufuga Kampala yagoba lipooti eno n’alagira baddeyo bagitereeze ate bannyonnyole engeri ekitongole gye kyafiirwa ssente ezo.

Mu kiseera kye kimu, olukiiko olufuga abakozi mu ggwanga olwa Public Service Commission lwayingira mu nsonga z’abakozi mu KCCA ne lusalawo nti bangi baddemu basabe emirimu olw’abamu obutaba na ndagaano zibakkiriza kukola. Kyokka Dayirekita Kitaka yategeezezza nti emirimu gitambula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...

Simba 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi