TOP

Aba mobile money bavuddeyo ku ttemu

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2019

Aba mobile money bavuddeyo ku ttemu

Lip2 703x422

Aba mobile money nga bateesa zaabwe ku Lwokuna.

ABAKOZI ba Mobile money mu muluka gw’ e Kasubi mu munisipaali y’e Lubaga basisinkanye n’abatwala ebyokwerinda mu kitundu buli ludda ne lulumiriza lunaalwo obunafu ku ttemu eririwo mu ggwanga kuba mobile money.

Mu lukiiko olwatuuziddwa ku Lwokuna ku Connect Point e Kawaala olwetabiddwaamu abakozi ba mobile money ,abaserikale ba poliisi, n’abatwala ebyokwerinda mu kitundu okutema empenda ku ngeri gye basobola okwerindamu obutemu obuli ku ba mobile money mu ggwanga.

Peter Tamale ssentebe w’omuluka gw’e Kasubi yategeezezza ng’obutemu ku bantu bano bwe buvudde ku bannanyini bizinensi ezo butakolagana na bitongole bya kwerinda n’ategeeza nti enduulu bagyekubira emitawaana gimaze kugwa.

Tamale yateegeza nti abatta ababatta ebiseera ebisinga enkwe ziba zipangiddwa bantu be beesiga ne bababuulira ebibakwatako, obungi bwa ssente ze babeera nazo n’emitendera mwe bazitambuliza n’ebyama ebirala .

Yagasseeko nti abamu ku bakozi bano balimu obukumpanya nga bakaasitoma bwe babawa ssente kyebakola bazisindika ewakyamu ne beekwasa bakaasitoma ng’ennamba ze babawadde bwe zibeera enfu ensonga gye yagambye nti ereetera be babbye okubawondera ne babatta.

Bright Kirya atwala poliisi y’eKawaala yanenyezza abakozi ba mobile money okugayaala ne basirikira be babeera beekengedde mu baamateeka ne balinda abantu abo okumala okubatuusaako obulabe ne balyoka babaasanguza mu beebyokwerinda.

Yawadde ekyokulabirako eky’omuwala Juliet Nabaasa gwe battidde e Lubaga gwe yayogeddeko nti wadde abatemu baali baamwegezaamu okumutta naye yalemererwa okubuulira poliisi okusobola okumuwa obukuumi okukkakkana nga baakomyewo ne bamutta.

ABA MOBILE MONEY BOOGEDDE

Bano bwe baatuuse okuweebwa akazindalo okwogera mu lukiiko batabukidde poliisi gye bategeezezza nti tekoze kimala mu kulwanyisa ettemu mu bizinensi zaabwe.

Bano bagambye nti emirundi mingi poliisi bazzenga bagikubira amasimu okubayamba ku babeera babayingiridde oba abantu ababeera bakwatiddwa nga bagezaako okubanyaga kyokka n’etuuka kikeerezi.

Bayongeddeko nti wakyaliwo ekizibu ky’ebitongole ebikuuma ddembe ebikwata ababbi ababatigomya ate oluvannyuma ne bayimbulwa nga bamaze okubaggyamu ssente.

Beemulugunyizza ne ku ssente abaserikale ze babaggyako nga basuubiza okulondoola ababeera bababbye ze bagamba nti zisusse obungi ne bategeeza nti babaggyako emitwalo 30 kyokka nga ezibbiddwa ziri 500,000 kyebagambye nti kitaataaganya kapito mu bizinesi zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.