TOP
  • Home
  • Amawulire
  • FDC enenyezza gav't okuyingiza amagye mu poliisi

FDC enenyezza gav't okuyingiza amagye mu poliisi

By Muwanga Kakooza

Added 15th July 2019

FDC enenyezza gavumenti okugattika abajaasi mu poliisi n’ewa amagezi nti poliisi bw’eba tekola bulungi mirimu gyayo waakiri egogolwe abatakola bulungi bagobwemu mussibwemu bamusaayi muto abasobola.

Wasswa1 703x422

Wasswa Biriggwa (kkono) ng’ayogera eri bannamawulire. Ku ddyo ye John Kikonyogo omumyuka w’omwogezi wa FDC.

FDC era egambye nti ‘’gavumenti y’abantu (Peoples government) ekulemberwa COL. Kiiza Besigye  n’ekisinde kya ‘People Power’ eky’omubaka Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine  bagenda maaso n’enteseganya ez’okulaba nga tebaddamu kusojjagana.

Bino ssentebe w’ekibiina kya FDC Omulungo Wasswa Biriggwa ye yabitegeezezza bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi mu Kampala. Wasswa yagambye nti gavumenti okussa abajaasi mu poliisi kigenda  kwongera kumalako Bannayuganda mirembe gya kwetaaya kuba ebitongole byombi (poliisi n’amagye ) bitendekebwa mu ngeri ya njawulo.

‘’Amagye gatendekebwa kulwanyisa mulabe ate poliisi etendekebwa kukolagana na bantu.Oba poliisi tekola bulungi mirimu  esaanye egyibwemu ababi essibwemu bamusaayi muto ebintu bitambule.Tusaanye okuddayo okukiririza mu poliisi nti esobola’’ Biriggwa bwe yagambye.

Kyokka Biriggwa yagambye nti ebigenda maaso tebyewunyisa nnyo kuba kirabika Pulezidenti Museveni yetegekera 2021 ky’ava assa amagye mu poliisi yenyweze. Yagambye nti n’okugula kamera n’emmundu n’okussa emmundu eziyitiridde mu bantu tekigenda kumalawo ttemu na bikolwa bya kumenya mateeka. N’ategeeza nti abantu beetaaga basomesebwe okwagalana buli muntu asse mu munne ekitiibwa.

Ku by’enteseganya wakati wa Gavumenti n’abludda oluvuganya, Biriggwa yagambye nti FDC yassaaawo olukalala lw’ebintu byeyagala bitesebweko NRM n’egaana okubiwuliriza. N’agamba nti embeera nga bweri tekigasa kugenda mu nteseganya za kusisinkana Pulezidenti Museveni na kunywamu kacaayi nga tewali kya maanyi kituukiddwaako.

Yasabye ne DP n’abomukago gwayo okukomya okwogerera FDC amafukuule olw’okugaana okugyegattako n’agamba nti ‘’DP ssi FDC’’ era balina ebirowoozo bya njawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kim1 220x290

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero...

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero okussa essira ku masomo agalina akatale

Det22 220x290

Ssemaka ow'emyaka 56 atudde senior...

Ssemaka ow'emyaka 56 atudde senior 6 ne mutabani ne basibagana mu bubonero.

Nom1 220x290

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka...

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka ku mukolo gw'okutuuza omulabirizi

Grave1 220x290

Abaffamire ya Nkoyooyo batabuse...

ABA FFAMIRE y’eyali Ssaabalabi­rizi w’ekkanisa ya Uganda, omu­genzi Bp. Livingstone MpalanyiNkoyoyo baguddemu ekikang­abwa...

Sit24 220x290

Abawala babuutikidde abalenzi mu...

Abawala babuutikidde abalenzi mu bya senior 6