TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2019

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi

Kub2 703x422

Dr. Roselline Nyamutale AKULIRA SASAKAWA mu Uganda (wakati) ne Dr. Rwamigisa Kaminsona mu minisitule y’obulimi n’obulunzi nga balambula omudaala gw’enva endiirwa ezirimiddwa abavubuka.

EBITONGOLE ebiyamba okutumbula ebyobulimi mu ggwanga bisabye Gavumenti ekozese abavubuka abatono abali mu kisaawe ky’obulimi mu kiseera kino okusikiriza bannaabwe abatalina mirimu okwetandikirawo egyabwe, n’okukoseza amaanyi gaabwe ag’ekivubuka mu kulima n’okulunda, okwaza emmere mu ggwanga n’okulwanyisa obwavu.

Bino byabadde Ntaawo ku MUZARDI ekitongole kya Gavumenti ekinoonyereza ku bulimi n’obulunzi mu musomo ogwategekeddwa ekitongole kya SASAKAWA eri ekibinja ky’ abavubuka 60 abaalondeddwa okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okubabangula mu ngeri gye bayinza okuyamba Gavumenti okusikiriza bavubuka bannaabwe mu bitundu gye bava okuyingira mu by’obulimi n’obulunzi, n’engeri gye bayinza okufuna ssente za Gavumenti ez’abavubuka (Youth Livelihood) okuteeka mu mirimu gy’obulimi.

Akulira ekitongole kya SASAKAWA mu ggwanga nga kino kiyamba abalimi okwongera omutindo ku bye balima ne bye balunda, Dr. Roselline Nyamutale yagambye nti mu myaka mitono egijja mu maaso Uganda yandigwamu enjala kakutiya ssinga Gavumenti tesitukiramu kuyingiza bavubuka mu bulimi n’obulunzi kuba abalima batono ate bakaddiye kyokka ng’omuwendo gw’abantu ogusinga obunene mu ggwanga bavubuka abatalima.

Yagambye nti, SASAKAWA etaddewo ebirabo eri abavubuka bassekinnoomu n’abali mu bibiina okusikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’ategeeza nti kuno bajja kugattako n’okubayamba okunoonya obutale, n’ebitongole ebiyinza okubawola.

Dr. Patience Rwamigisa, Kaminsona mu Minisitule y’ebyobulimi n’obulunzi n’obuvubi eyakiikiridde minisita Vincent Bamulangaki Ssempijja, yagumizza abavubuka nti Gavumenti yayongezza ssente z’essa mu by’obulimi n’abavubuka mu mwaka gw’ebyensimbi omupya eza Youth Livelihood.

Be basigadde okuzikozesa nga babaako pulojekiti z’ebyobulimi n’obulunzi ze bateekawo Gavumenti ebongeremu. Yagambye nti, obulimi, obulunzi n’obuvubi lye kkubo eryangu erijja okuyamba eggwanga okuvvuunuka ekizibu ky’ebbula ly’emirimu mu bavubuka, enjala n’obwavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600