TOP

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2019

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa nga n’agamu we gaali waasimwawo kaabuyonjo. Obutaka busangibwa ku kyalo Misindye mu ggombolola y’e Ggoma mu e Mukono.

Samba 703x422

Polof. Ssemakula ng’alaga ettaka ly’ebiggya eryatundiddwa.

BYA MUHAMMAD SSEBULIBA

Ku Lwomukaaga, Ssemakula yakedde ku poliisi e Sseeta gye yaggye abaserikale ba poliisi abaawadde ab’ekika obukuumi nga basiba ssehhenge okutaayiza akatundu akaasigaddewo.

Yagambye nti ekibanja kino ekiwerako yiika 10 omusika wa kitaabwe omugenzi Yowana Ssemakula eyali amanyiddwa nga Kapipa ayitibwa Edimond Mugomba y’akitunze kumpi kukimalawo.

“Wano we nnakulira kyokka kyansusseeko bwe natuuse awaka nga Mugomba atunze n’ebiggya n’abitundiramu. Tuludde nga tulabula abantu okukomya okugula poloti Mugomba z’asala ku kibanja kino kyokka kirabika n’abakulembeze b’ekyalo bakiganyulwamu kuba be bamuteera emikono ku ndagaano ng’atunda.

Yagambye nti waliwo n’omulundi abeekika lwe baagenda okuteesa ku nsonga z’obutaka ne wabaawo abaabayungulira abavubuka babakube. Yayongeddeko nti kye baava batuula ne baggya obwesige mu Mugomba n’ekifundikwa ky’obusika bwa kitaabwe ne bakimuggyako.

Yagambye nti ng’ogyeeko obutaka we baziika, yatunda ekibanja okwali omusiri gw’emmwaanyi omwavanga sente ezaabaweerera ku 1500/= Magomba n’anywa omwenge.

Yayongedde nti okusiba ssehhenge ku kitundu ekisigaddewo yasoose kwekubira nduulu e Kibuli ku kitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka.

ASP Henry Mutungi yampadde amagezi nsibe sehhenge okwetooloola ekibanja olwo abaagula lwe banavaayo boogere eyabaguza ne kwe baasinziira okugula kuba Mugomba baaguza abalaga kifundikwa sso mu kika taliimu omu” Ssemakula bwe yategeezezza.

Yayongedde nti “Ennyumba mwe twakulira nagissaamu ensimbi okugiddaabiriza kyokka nayo yagitunda n’abaagigula baAgimenyawo.

Edward Kasiiriivu omu ku baagula poloti ku kibanja yagambye nti Mugomba buli gw’aguza amukolera endagaano nga n’abakulembeze b’ekitundu weebali era ebiwandiiko babissaako emikono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.