TOP

Abaana Abakaramoja basomesebwe okulunda

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2019

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja okukolera abagagga

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 703x422

Dr. Keefa Sempangi

Bya Joanita Nakatte 

Dr. Keefa Sempangi alina obumanyirivu mu kuggya abaana ku nguudo n’okubalabirira awabudde abalowooza nti abaana abava e Karamoja bakiwagi nga be beereeta ku nguudo okusabiriza n'agamba nga bwe bagulwa okuva mu bazadde baabwe okujja okupakasiza abagagga ensimbi.

Ssempangi yagambye nti, gavumenti yandibadde etandika n’enteekateeka y’okubasomesa ebyo ebigya mu buwangwa bwabwe era bye bategeera obulungi naddala ebikwatagana n’obulunzi kubanga ky'ekimu ku kye basinga okutegeera.

Eno y’enkola gavumenti kwe yandibadde etandikira okubangula abaana b'e Karamoja mw’ebyo bye basobola okukola okufuna ssente. Okubayigiriza okulima omuceere kuba kumala biseera kubanga tebagenda kubitegeera wadde okubyagala kubanga si buwangwa bwabwe,” Sempangi bwe yagambye.

Okwogera bino yabadde mu maka ge agasangibwa e Wantoni mu Mukono bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku nteekateeka gy'alina ey’okuzzaawo ekibiina kye ekya Africa Foundation ekyalabiriranga abaana b’oku nguudo, ekyaggalwawo oluvannyuma lw'abavujjirizi b'ensimbi okufuna obutakkaanya naye ku nsomesa yaabwe.

 bamu ku baana abakyabeera ne bazadde baabwe abalabirirwa obulungi e aramoja Abamu ku baana abakyabeera ne bazadde baabwe abalabirirwa obulungi e Karamoja

 

Yategeezezza bannamawulire nga bwe yafuna yiika z'ettaka ttaano okussaako amaka omugenda okuba ettendekero ly'ebyemikono n'emisomo egya bulijjo.

Yagambye nti, alina ekigendererwa eky’okusomesa abaana bano okufuuka abantu abasobola okweyimirizaawo nga tebayimiridde ku buyambi, ate ng'Abazungu abaamuwanga ensimbi, bo si y'endowooza yaabwe.

Yayongeddeko ng'eggwanga bwe lirina ebikozesebwa okubafuula abakozi era abakozesa, so si abasabiriza ku nguudo.

Abaana abasoba mu 6,000 nga baayita mu mikono gya Sempangi be basaasaanidde ensi yonna nga bakola emirimu gy'ekikugu omuli abagoba b'ennyonyi, abasawo, abasomesa mu yunivasite n'emirimu emirala egy'ekikugu. 

Bano be beegasse okumuwa ensimbi addemu alabirire bannaabwe abakyabungeetera ku nguudo za Uganda era omukolo ogw'okutongoza okuzzaawo amaka gaabwe gwakubaawo omwaka guno, nga lwe bagenda n'okukuza amazaalibwa ge ag'emyaka 80.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.