TOP

Abakungu ba poliisi bakyusiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2019

Abakungu ba poliisi bakyusiddwa

Pop1 703x422

Nganizi ku kkono ne Acega ku ddyo

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola akoze enkyukakyuka mu baserikale bw’abaggye mu ofi isi n’ebitundu gye babadde bakolera n’abasindika okukola awalala.

Enkyukakyuka zino we bazikoledde nga Pulezidenti Museveni yaakasindika abamagye mu poliisi okukulira ebitongole eby’enjawulo omuli ekivunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu (Human Resource Administration) ekikulirwa Col. Jese Kamunanwire, Brig Godfrey Golooba nga y’akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kutendeka abaserikale, Col. Chris Sserunjogi Ddamulira y’akulira ekikessi ate Brig. Jack Bakasumba nga y’akulira abaserikale bonna.

Mu nkyukakyuka ezikoleddwa abaserikale abamu bakyusiddwa okuva mu bitongole mwe babadde bakolera ne batwalibwa mu birala ng’abamu baggyiddwa mu kitongole ekikessi. Wiiki ewedde poliisi ebadde etuula mu nkiiko n’amagye ne babaako ensonga ze boogerako nga n’enkiiko ezimu zeetabwamu omuduumizi w’amagye, Gen. David Muhoozi.

Mu nkyukakyuka zino ACP Richard Ecega yaggyiddwa mu kitundu kya Kigezi (Kabale ) n’atwalibwa okuduumira poliisi y’e Rwizi (Mbarara), SSP Caroline Akoth yatwaliddwa okuduumira poliisi mu kitundu kya Savannah ( Luweero). SSP Wesley Nganizi yatwaliddwa okuduumira poliisi mu kitundu kya Elgon (Mbale) okuva mu kitundu kya Kampala North nga kigambibwa nti ekitundu kino kibaddemu emisango mingi.

Abadde mu kitundu kya Elgon ACP Fulgencio Betingyeza y’amuddidde mu bigere mu Kampala North, SSP Muzafaru Zirabamuzaale yasindikiddwa ku kitebe kya poliisi mu Kampala n’emiriraano okukulira ebikwekweto, SSP Eddie Sserunjogi yasindikiddwa okuduumira poliisi mu kitundu kya Kigezi.

SP Godfrey Achiria yatwaliddwa okumyuka aduumira poliisi mu Kampala South, SP Boniface Kinyera yatwaliddwa okuduumira poliisi y’e Manafa. ASP Loy Ziramuke abadde akulira poliisi y’ebidduka ku CPS yatwaliddwa okukulira ofi isi yeemu e Ntebe, ASP Elly Kaigwa abadde e Kajjansi atwaliddwa okukulira poliisi y’ebidduka ku CPS, ASP Stella Cheptumba yatwaliddwa okukulira poliisi y’ebidduka e Kisubi, SP Alice Kuka abadde akolera ku poliisi ya Paliyamenti yatwaliddwa okukolera mu ofi isi y’ebikwekweeto mu Kampala n’emiriraano.

D/ASP Jane Sanyu yaggyiddwa e Isingiro n’atwalibwa e Kalungu okukulira okunoonyereza ku misango, D/ASP Fred Isabirye yaggyiddwa e Butambala n’atwalibwa okukulira okunoonyereza ku misango ku poliisi y’e Kiruhura nga D/ASP Alexander Nuwagaba abadde yasindikiddwa ku kitebe kya poliisi e Naguru.

Okoth Ochola bwe yali aggulawo okutendekebwa kw’abakulira okunoonyereza ku misango yagamba nti Nuwagaba talina kukwetabamu kuba alina emisango egimuvunaanibwa.

D/ASP Alfred Ndungutse abadde akulira ebyekikessi ku poliisi ya CPS yatwaliddwa okukulira ofi isi yeemu e Mbarara , D/ASP Ibrahim Lwebuga yaggyiddwa e Mbalala n’atwalibwa okukulira ofi isi y’ekikessi ku poliisi ya Jinja Road, ASP Coleb Asiimwe yasindikiddwa okukulira poliisi y’e Mbalala – Mukono

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mpolo9webusebig 220x290

Bakatikkiro b'ebika bafunye essuubi...

Ssaabawolereza wa Mmengo, Christopher Bwanika yasabye ebika okuwandiisa enkiiko z'abayima era balambike bulungi...

Renah1 220x290

Renah Nalumansi azaalidde maneja...

Omuyimbi Renah Nalumansi azaalidde Justin Bas omusika ne yeewaana "sikyali mu kiraasi ya ba laavu nigga"

Tegula 220x290

Mutabani, buno bwe butaka bwaffe...

MUTABANI wa Bobi Wine akuze. Era nga taata ow’obuvunaanyizibwa, Bobi Wine takyaleka mutabani we waka.

Fun 220x290

Nakakande yeeriisa nkuuli mu Miss...

NNALULUNGI wa Uganda, Oliver Nakakande (owookubiri ku ddyo) ayongedde okutangaaza emikisa gye okuvuganya mu mpaka...

Kubayo 220x290

Eddy Kenzo Guma newange bibuuza...

ABAYIMBI Jose Chameleone ne Eddy Kenzo baabaddeko mu kivvulu kya Wizkid e Lugogo. Baalabiddwaako nga beesika mu...