TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ogwa Dr. Stella Nyanzi okulebula Museveni gusalwa nga 1, August

Ogwa Dr. Stella Nyanzi okulebula Museveni gusalwa nga 1, August

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2019

DR. STELLAH Nyanzi, emisango gye egy’okuvuma President Yoweri Kaguta Museveni ng’ayita ku mukutu gwa facebook gya kusalwa nga August 1 oluvannyuma lw’okulemererwa okuleeta abajulizi be yali awaddeyo mu kkooti abalina okumuwolereza.

Drstella1562588246355aspr1308w760h581e 703x422

Dr. Stella Nyanzi

Bya ANNET NALUGWA 

Omulamuzi Gladys Kamasanyu owa kkooti ya Buganda Road yalagidde kino oluvannyuma lw’okulemererwa okubaleeta ate nga kkooti eno eyongezzaayo emirundi agiwera nga tabaleeta, omulamuzi kwe kusalawo nga August 1 omwaka guno awe ensala ye.

Nyanzi yawaayo pulezidenti Museveni ng’omujulizi asooka, n’agattako bapolofeesa b’e Makerere ne bannaddiini ku misango gy’okuvuma Pulezidenti Museveni ng’ayita ku mukutu gwa facebook kyokka kkooti Pulezidenti ne muggyaako kuba mu mateeka talina kuggya mu kkooti ng’akyali mu ofiisi eyo olwo ne basigala abajulizi 19 nabo abatawadde bujulizi.

Dr. Nyanzi avunaanibwa okukozesa obubi yintaneeti, okuvvoola ekitiibwa n’okunyiiza Pulezidenti Museveni. Nyanzi yawa kkooti olukalala lw’abantu 20 abagenda okumuwolereza n’asaba kkooti ebawe ebiwandiiko ebibayita mu budde kubanga abasinga bakozi ba

Gavumenti noolwekyo ssi kyangu kwereeta bokka okuggyako nga kkooti ebayise.

Olukalala luno kwaliko; Pulezidenti Museveni ng’omujulizi asooka n’agamba nti oludda oluwaabi lugamba nti, baamuvuma asaanye ajje abuulire kkooti ensonga ze ku Dr. Stella Nyanzi.

Abalala kwaliko; Grace Akullo akulira bambega ba poliisi mu ggwanga, Fr. Gaetano Batanyenda, Bp. Zac David Niringiye, omumbejja Solome Nakaweesi, Frank Kitumba, Mustafah Mugisa, Polof. Suzan Kiguli, Polof. Slyivia Tamale n’abalala

Okuva mu November w’omwaka oguwedde Nyanzi ali ku limanda e Luzira era yasalawo kusirika wabula nga yalina essuubi nti abajulizi abo be banaamuwolereza ku misango gino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.