TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abataka balabudde omusika okukomya okwezza ettaka lya bamulekwa

Abataka balabudde omusika okukomya okwezza ettaka lya bamulekwa

By Moses Lemisa

Added 16th July 2019

ABATAKA n’emikwano gy’omugenzi Sekyene e Kanyanya batudde ne balabula omusika we okuyimiriza mbagirawo ekigendererwa ky’okweddiza ettaka lya bamulekwa.

Wamma 703x422

Nkalubo omu ku baana ng’asomera abakulu ekiraamo.

Omugenzi George William Sekyene yali mutuuze w’omu Lutunda zooni mu munisipaali y’e Kawempe nga yafa mu 2011 omugenzi yaleka Nnamwandu Alice Nassanga nga ye ne bamulekwa be bagugulana n’omusika wa kitaabwe Richard Lumala Mulajje 49, gwe balumirizza nti alina omupango gw’okweddiza ettaka eriweza yiika bbiri n’omusobyo okuli n’amaka g’omugenzi .

Wiiki ewedde bakanyama baasaawa olusuku oluli ku ttaka lino ng’aba famire ne balumiriza Mulajje okuba emabega waakyo.

Wano abataka ne mikwano gy’omugenzi we baasinzidde ne bakuba olukiiko mu maka g’omugenzi ku Lwomukaaga okusala amagezi aganaamalawo obutakkaanya mu famire eno kuba omugenzi yali musajja wa kitiibwa .

Baategeezezza nti ebikwata ku famire babimanyi ng’era bagenda kufuna olunaku bayite Mulajje abannyonnyole kw’asinziira okwagala okweddiza ettaka ng’ate ekiraamo kiraga yasikira musaayi ng’omugabo gwe kitaawe yagumuwa mulamu obuyinza bw’ettaka n’abulekera Nnamwandu.

Ronald Mugerwa omu ku batuuze yagambye nti singa Nnamwandu yagoba abaana awaka oba n’atunda ku ttaka yandibadde n’omusango ng’era Mulajje yakola nsobi okumutwala mu kkooti e Makindye.

Yagambye nti ekiraamo kirambika bulungi buli nsonga nti yasikira musaayi na kuluhhamya baganda be .

“Obuvunaanyizibwa bw’omusika si kweddiza buyinza ku byabugagga, alina kubudaabudda banne.”

Solomon Nkalubo omu ku baana b’omugenzi yasomye ekiraamo kya kitaabwe nga waliwo ne we kigambira nti singa batunda ettaka abakolimidde bafe nga baavu ng’era bazunga.

Yagambye nti bamaze emyaka 6 nga bagugulana n’omusika ng’era oluvannyuma lw’obulumbaganyi baawandiikidde kkooti ye Makindye ebbaluwa gye baawaddeko n’abakulira ebyokwerinda mu Kawempe, “Tusaba bukuumi tukendeeze obunkenke muganda waffe bw’aleese okwagala okusaanyaawo obutaka bwaffe. Kyokka ekyewuunyisa kitaffe yamuwa omugabo gwe ng’omusika” Nkalubo bwe yategeezezza.

Nnamwandu yagambye nti ali mu kutya olw’omusika afuuse ekizibu ng’ayagala atwala ettaka lya bamulekwa.

Yayongeddeko nti omwana ono yamutwala ku poliisi n’amuggulako ebisangosango n’ekigendererwa ky’okumutiisatiisa asobole okupondooka era kati omusango guli mu kkooti e Makindye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mpolo9webusebig 220x290

Bakatikkiro b'ebika bafunye essuubi...

Ssaabawolereza wa Mmengo, Christopher Bwanika yasabye ebika okuwandiisa enkiiko z'abayima era balambike bulungi...

Renah1 220x290

Renah Nalumansi azaalidde maneja...

Omuyimbi Renah Nalumansi azaalidde Justin Bas omusika ne yeewaana "sikyali mu kiraasi ya ba laavu nigga"

Tegula 220x290

Mutabani, buno bwe butaka bwaffe...

MUTABANI wa Bobi Wine akuze. Era nga taata ow’obuvunaanyizibwa, Bobi Wine takyaleka mutabani we waka.

Fun 220x290

Nakakande yeeriisa nkuuli mu Miss...

NNALULUNGI wa Uganda, Oliver Nakakande (owookubiri ku ddyo) ayongedde okutangaaza emikisa gye okuvuganya mu mpaka...

Kubayo 220x290

Eddy Kenzo Guma newange bibuuza...

ABAYIMBI Jose Chameleone ne Eddy Kenzo baabaddeko mu kivvulu kya Wizkid e Lugogo. Baalabiddwaako nga beesika mu...