TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa Mobile Money eyabula yeeraliikirizza bazadde be

Owa Mobile Money eyabula yeeraliikirizza bazadde be

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2019

ABAZADDE beeraliikirivu olwa muwala waabwe awezezze kati wiiki nnamba ng’abuze okuva ewaka naddala.

Yabuze3679 703x422

Bya JOSEPH ZZIWA

Adolf Lutaaya omutuuze w'e Namasuba mu Munisipaali ya Makindye Ssaabagabo agamba muwala we Getrude Nakimbowa 17 yabula ku lw’okubiri lwa wiiki ewedde nga July 9,2019 ku saawa bbiri ez’ekiro nga yagenda okuva ku mulimo teyamusangawo.

Lutaaya agamba ono abadde akola ku Mobile Money okumpi n’awaka era ye yalowooza nti osanga waliwo omuvubuka eyamuddusizza ewaka kyokka ekyamutadde ku bunkenke kwekuba nga essimu ya muwala we yaggyibwako nga kati kitutte wiiki nnamba tamanyi mayitire ga mwana we.

Agamba yagenda ku poliisi ya Namasuba n’alipootinga kyokka tewali mawulire geyaafunye ku muwala we ekintu ekimulese nga takyebaaka kuba ennaku zino ettemu lingi naddala ku bakola omulimo ogwo, Lutaaya agamba amusuubira kuba mu bitundu bya Kampala era bwaba musajja nga y’amulina ali naye mu bukyamu,yasabye aba amulabyeko yenna akube ku nnamba zino 0706481804 ne 0781145309.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...